Bya Ssemakula John
Kampala
Eby’okuwulira okusaba kw’omubaka wa Kawempe North, Muhammad Ssegirinya ne Allan Ssewanyana owa Makindye West, bizzeemu kigoye weezinge oluvannyuma lw’ ebyuma bikalimagezi okwecanga wakati nga kkooti egenda mu maaso.
Okusinziira ku bakugu, omutimbagano gwa ZOOM gwecanze okutuusa amayengo ku kkomera e Kigo ekyawalirizza omulamuzi okusooka okuyimiriza kkooti okumala akaseera.
Mu ngeri yeemu, munnamateeka wa Ssegirinya ne Allan Ssewanyana, Shamim Malende era omubaka wa Kampala ategeezezza nga bwe yalumbiddwa abantu abataategeerekese ne baggya omukka mu mmotoka ye, ekimulemesezza okutuuka ku kkooti mu budde.
Ng’ayita ku mutimbagano, omubaka Malende akakasizza bino n’ategeeza nti oluvannyuma lw’okumulemesa okugenda ku kkooti, bano badduse.
“Nnumbiddwa abasajja abatamanyise nga ng’enda ku kkooti e Masaka okusabira ababaka Muhammad Ssegiriinya ne Allan Ssewanyana okweyimirirwa,.” Malende bw’annyonnyodde.
Olwaleero kkooti enkulu e Masaka ebadde ewulira okusaba kw’ababaka bano okweyimirirwa oluvannyuma lw’okumala akaseera nga bali mu kkomera ku bigambibwa nti beenyigira mu ttemu ly’ebijambiya eribadde mu bitundu by’e Masaka.
Ababaka bano bazze basaba okweyimirirwa enfunda eziwera naye nga kugaanibwa ng’ensonga eyasembayo okuweebwa yali yakubulwa omulamuzi omutuufu alina okuwulira omusango guno.
Oluvannyuma kkooti ezzeemu Omulamuzi wa kkooti enkulu e Masaka Lawrence Tweyanze omusango nagwongerayo okutuuka nga 25 omwezi guno, wanaweera ensala ye okuwa ensala ye ku kusaba kw’okweyimirirwa kw’ ababaka bano.
Kinajjukirwa nti ababaka bano baali baayimbulwa nga September 23 naye ne baddamu ne bakwatibwa nga baakayimbulwa.