Bya Noah Kintu
Ssembabule
Eyavuganya ne muwala wa Minisita Sam Kuteesa, Shartsi Musher ku kifo kya Mawogola North, amututte mu kkooti wamu n’akakiiko k’ebyokulonda olwa vvulugu gw’agamba nti yayitirira mu kulonda omubaka w’ekitundu ekyo mu kalulu ka bonna akaakubwa nga 14, January 2021.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2021/03/bava.png)
Addukidde mu kkooti ye Wagaba Ismeal omutuuze ku kyalo Nambiriizi mu muluka gw’e Nsoga mu ggombolola y’e Mijwala era y’omu ku bantu 8 abaali beesimbyewo okwali; Startsi Musherure, Aine Sodo, Nakayiza Catharine, Lyazi Moses n’abalala.
Wagaba ayise mu bannamateeka be aba Kabuusu and Muhumuza era Kuteesa mu bawaabidde kuliko Shartsi Musherure n’akakiiko k’ebyokulonda.
“Wadde Musherure Shartis Kuteesa baamulangirira naye emitendera gye yayitamu tegyali mituufu.”
Wagaba yannyonnyodde nti okulonda kwalimu emivuyo mingi okwali okuleeta abamu abaalondesa mu kamyufu ka NRM ne balondesa mu kalulu ka bonna ky’agamba nti kyali kimenya mateeka.
“Nawandiikira akakiiko k’ebyokulonda nga nneemulugunya ku nsonga yabalondesa abalondesa mu kalulu ka NRM obutabateeka mu kulonda kwa bonna. Wabula abaakakiiko k’ebyokulonda e Ssembabule tebaawuliriza kusaba kwange ate ng’ekintu ekyo kyali kimenya amateeka.” Wagaba bwe yagambye.
Yalumirizza oludda lwa Kuteesa okugobaganya bagyenti be mu bifo awalonderwa mu magombolola okwali Lugusuulu, Kawanda, Mitima n’awalala.
Yanokoddeyo erinnya ly’omu ku bakoddomi ba minisita Sam Kuteesa amanyiddwa nga Muganga Albert nti ye yakulemberamu okugobanga abantu baabwe awalondebwa.
Wagaba agamba by’alina biraga nti obululu bwasinga omuwendo gw’abalonzi obungi era bw’atyo n’asalawo okuddukira mu kkooti mu kifo ky’okugenda ku nguudo okwekalakaasa era asuubira okufunamu obwenkanya.
Ono yategeezezza nti okulwawo okugenda mu kkooti kwekuba nti yali alinze abaalondebwa basooke bafulumizibwe mu kyapa kya gavumenti era kino olwawedde kwe kuteekato omusango gwe era n’omuwandiisi wa kkooti enkulu e Masaka, Agnes Nkonge yakakasizza okufuna empaaba ye.
Bino webijjidde ng’omuwawaabirwa Shartis Kuteesa Musherure ali bweru wa ggwanga wadde nga Wagaba agamba nti anoonya bannamateeka be abawe ebbaluwa eraga nti yabawawaabidde.