Bya Francis Ndugwa
Bulange -Mmengo
Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga, atangaazizza Obuganda ku mbeera ya Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II era n’asambajja ebyogerwa nti Omutanda yaweebwa obutwa. Owek. Mayiga okulambika kuno akukoledde mu bimuli bya Bulange bw’abadde ayogerako eri bannamawulire leero ku Lwokutaano ku biriwo.
“Ebyo byonna ebyogerwa nti Ssaabasajja Kabaka yaweebwa obutya si bituufu n’akatono n’engambo zonna ezibungesebwa ku mutimbagano teziriimu kanigguusa era tubasaba obutazigenderako.” Owek. Mayiga bw’agambye.
Katikkiro Mayiga annyonnyodde nti Beene atawaanyizibwa ekirwadde kya ‘Allergy’ era y’ensonga lwaki abaali ku mukolo gw’amazaalibwa ku Lwokubiri baalaba ng’akyuseemu mu nfaanana ye era nga afuna obuzibu mu ngeri gyassaamu.
Owek. Mayiga agambye nti bayungudde ttiimu y’abakugu eri mu kwekenneenya obulamu bwa Kabaka era basuubira nti ajja kuvvuunuka ekizibu kino mu kaseera akatono.
Kino kiddiridde abantu ab’enjawulo okutandika okubungeesa eng’ambo ng’obulamu bwa Kabaka bwe buli mu matigga nga bagamba nti yaweebwa obutwa.
Katikkiro Mayiga alabudde abantu ku biwayi ebitandise okukung’aanya ssente mu bantu nti zaakutwala Kabaka bweru nti bano bafere.
Ku kiwandiiko ekibadde kitambuzibwa ku mitimbagano ekimugoba, Owek. Mayiga agamba nti ababitambuza balalu kuba ye waali aweereza Obuganda.
Owek. Mayiga agamba nti tewabaddewo nsonga egaana Nnamuswa kulabikako eri bantu be kuba yabadde tataawa ng’abamu bwe baagala ensi okulowooza naye nga kino kiva ku mukwano omungi abantu gwe balina gy’ali.
Katikkiro Mayiga annyonnyodde nti Beene ye Nnannyini Buganda era y’abukulembera era y’ensonga lwaki alonda Katikkiro okumuyambako era bw’aba amukwasa Ddamula amugamba kugenda kumufugirako.
Akuutidde abantu obutakkiriza bantu ba ku Mutimbagano kubamalako mirembe kuba abamu basavuwaza ekigenze awala nga banoonya okufuna abagoberezi.
Ku lukung’aana luno Katikkiro Mayiga aweerekeddwako Omumyuka asooka owa Katikkiro, Hajji Twaha Kaawaase, Minisita w’amawulire Noah Kiyimba, Ssaabawolereza Christopher Bwanika awamu n’abakungu abalala.