Bya Francis Ndugwa
Mmengo
Kamalabyonna wa Buganda, Charles Peter Mayiga, alagidde abavubuka bulijjo okulwanirira ebintu ebibakwatako naddala obuwangwa n’ennono ng’Abaganda singa wabeerawo embeera yonna ebityoboola.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/10/293553dd-8bc6-492d-9e39-9fc18db0f6da-1024x678.jpg)
“Ekyamazima Uganda yazimbirwa ku mawanga gaayo ag’enjawulo, tosobola kukyegaana era omala kufuna mawanga gano n’olyoka ofuna Uganda eyawamu, n’olwekyo ebitukwatako ng’Abaganda tulina okuyimirirawo ku magulu gaffe abiri ng’omusana gwaka netubirwanirira,” Owek. Mayiga bw’alambise
Bino Mukuumaddamula abitegeezezza abavubuka ba Buganda n’abakulembeze abamutwalidde ekiwandiiko nga kiraga obutali bumativu bwabwe ku bikolwa by’okukuba ttiyaggaasi ab’Embogo abaabadde ku butaka bwabwe e Mugulu ku Lwomukaaga.
Kamalabyonna abavubuka abasiimye olw’obutatiririra Buganda nebavaayo okulaga obutali bumativu ku bikolwa ebyakoleddwa nga bityoboola obuwangwa n’ennono.
Abakuutidde okunyweza obumu naddala mu kiseera kino eky’akalulu era akalulu bakawe oyo gwe balaba ng’ajja kusobola okulwanirira ensonga za Buganda Ssemasonga ettaano.
Mayiga annyonnyodde nti ekikolwa ky’okulemesa Abaganda okweyagalira ku butaka kubeera nga kubaggyako mannya gaabwe era nga tekijja kukkirizibwa kubanga obutaka bw’ebika bulinga ddiini, tebusosola mu bantu ba Kabaka.
Katikkiro Mayiga ategeezezza nti wadde Uganda yazimbirwa ku mawanga ag’enjawulo naye tekiggyaawo kiri nti abantu balina obuwangwa bwabwe era nga si nsonga ku ndowooza ya byabufuzi muntu gy’alina, bonna balina ebika mwe bava era nga kye kibafuula Abaganda.
Owek. Mayiga abavubuka abasibiridde Entanda mu kalulu aka 202, balonde abantu abo abasobola okulwanirira ensonga za Buganda Ssemasonga ettaano, awatali kwawula mu bibiina kubanga bano bonna bantu ba Ssaabasajja Kabaka.
Ono asabye gavumenti okussa ekitiibwa mu mu buwangwa n’ennono za Bannayuganda era esse ekitiibwa mu ddembe lya bannansi ng’ekoma ku basajja baayo abagufudde omuze okutyoboola n’okulengeza obuwangwa n’ennono za Buganda.
Owek. Mayiga abasuubizza okutuusa ekiwandiiko kyabwe ewa Ssaabasajja Kabaka era nti agenda kutuula ne banne bakyekenneenye era basalewo ku ebyo abavubuka bano bye basabye.
Katikkiro agasseeko nti akwataganye nebekikwatako okugonjoola obuzibu buno buleme kuddamu kubaawo.
Ku lwa banne, Kizza Hakim Sawula, ategeezezza Katikkiro nti bakooye ejjoogo lya gavumenti erityoboola Obuwangwa n’ennono z’abantu ab’enjawulo mu Uganda, eryeyongera buli kadde nga birina okubaako ekkomo.
Abavubuka bano kati baagala gavumenti eggalire atwala poliisi mu kitundu kino, Kagalula Bob n’omudduumizi wa poliisi e Mityana, Alex Mwine Mukono, bavunaanibwe. Era basabye omuduumizi wa Poliisi n’aduumira amagye baveeyo beetonde ku bulumbaganyi buno awamu n’ensonga endala.
Oluvannyuma bano ekiwandiiko kyabwe bakikwasizza Katikkiro Mayiga era n’abasuubiza okukitwalira Beene era n’abasuubiza okutuula n’olukiiko lwe batunule mu bimu ku bintu abavubuka bano bye basabye.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/10/263d0b1e-300a-4cef-a7fe-43d6ec395e92-1024x678.jpg)
Ku bano kubaddeko; Mmeeya Sserunjogi ow’eddembe, Omubaka Nabillah Naggayi Ssempala, Kkansala Muhammad Ssegirina, Wakayima Nsereko, Omuyimbi Walukagga wamu n’abakulembeze ab’enjawulo.