Musasi waffe
Olwaleero Olukiiko lwa Buganda nga lukubirizibwa sipiika waalwo, Patrick Luwaga Mugumbule lutudde era ne luyisa ebiteeso musanvu. Ebiteeso bino ebisomeddwa minisita w’Olukiiko Kabeneeti, Abagenyi era omwogezi w’obwakabaka Oweek. Noah Kiyimba bisinze kwesigama ku kwogera kwa Katikkiro Charles Peter Mayiga.
Ebiteeso mu bujjuvu.
- Olukiiko lwebaza Katikkiro olw’emirimu egikoleddwa gavumenti ya Ssaabasajja Kabaka mu lugendo lw’okuzza Buganda ku ntikko.
- Olukiiko lukubirizza abantu ba Buganda okuwangana ekitiibwa naddala nga tusemberedde ekiseera ky’eby’obufuzi era n’okujjukira nti ensonga y’okuwangana ekitiibwa ya nnono mu buwangwa bwa Buganda.
- Olukiiko lusabye gavumenti eyawakati okulondoola ensonga omukaaaga ezivaako obusambatukko ku ttaka. Ensonga zino zeezino; Obunafu bwa poliisi, obunafu bwa kkooti, obukuluppya mu woofiisi z’ettaka, okweyongera kw’obungi bw’abantu, okukaddiwa kw’ettaka, n’okuyingiza eby’obufuzi munsonga z’ettka. Olukiiko lukaatirizza nti ebizibu by’ettaka tebiva ku ttaka lya mayiro naye kusonga ez’omukaaga ezinokoddwayo.
- Olukiiko lukaatiriza obwetaavu b’okukuuma obutonde bwensi nga tusimba emiti, mu kwanjula, mu nnyimbe, mu bijaguzo eby’enjawulo, mu mikolo egy’eddiini wamu n’okumansa ensigo z’emiti egy’ebibala mu byererezi wonna mu Buganda.
- Olukiiko luyisizza ekiteeso nga lukubiriza abantu ba Buganda okwewala ebya cryptocurrency n’enkola zonna endala ezisuubiza obuggagga obwamangu.
- Olukiiko lusabye gavumenti wakati okukomya okubikkirira ababbi wamu n’obubbi nga babuyita obuli bw’enguzi.
- Olukiiko lufunye ebiwandiiko mu butongole omuli alipoota erambika okuteeka munkola nnamutaayiika y’omwaka 2018/2023 ey’obwakabaka weetuuse era Olukiiko lufunye alipoota ku ntekateeka y’okutumbula eby’obulambuzi n’okulamba ebifo ebyenkizo mu Buganda aawamu n’enteekateeka y’Obwakabaka ea yinsuwa eya Tubeere balamu