Musasi waffe
Olukiiko lwa Buganda No. 4/27 olutudde olwaleero nga 29 Ssebaaseka 2020 luyisiza ebiteeso bino wammanga:
- Olukiiko lw’ebazizza nnyo Ssaabasasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II olw’okusiima okuzza obujja Olukiiko lwa Buganda Olukulu.
- Olukiiko lw’ebazizza nnyo Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II olw’okuvaayo mu kaweefube w’okulwanyisa nawookeera wa Ssenyiga Omukambwe COVID-19
- Olukiiko luyisiza Embalirira y’Obwakabaka ey’omwaka 2020/2021.
- Olukiiko luyisiza ekiteeso nga lusaba Gavumenti eddamu okwekennenya enteekateeka y’ebyensoma kibeere kya buwaze okusomesa; Ennimi ennansi, okusomesa ebyobulimi, okusomesa ebya tekinologiya, okusomesa ebyafaayo bya buli kitundu
ERA Olukiiko lusabye Gavumenti ya Kabaka eyongere okuwuliziganya ne Gavumenti eya wakati ku nsonga eno
- Olukiiko luyisizza ekiteeso nga lusaba Akakiiko k’ebyokulonda okwebuuza ku bannabyabufuzi ab’enjuyi zonna n’abantu abalala ab’ensonga mu ggwanga wasobole okubeerawo okukkanya ku nteekateeka y’ebyokulonda erimu obwerufu amazima n’obwenkanya