Bya Ssemakula John
Najjanankumbi
Abakulembeze b’ekibiina kya Forum for Democratic Change (FDC) balaze obutali bumativu ku kusosola okukolebwa ebitongole by’ebyokwerinda nga beekwese mu kukwasisa ebiragiro bya Ssennyiga Corona.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/10/SSEMUJU.jpg)
Omwogezi w’ekibiina kino, Ibrahim Ssemujju Nganda, ategeezezza nti ab’ebyokwerinda ebiragiro bino babikozesa okulemesa ab’oludda oluvuganya okunoonya akalulu wakati ng’okulonda kwa bonna okwa 2021 kubindabinda.
“Ebiragiro bya COVID-19 byaleetebwa okubikkirira aba NRM ne Museveni kye bayagala okukugira bannabyabufuzi mu tteeka erifuga enkung’aana erya ‘Public Order Management Act,” Ssemujju bw’ategeezezza.
Ssemujju annyonnyodde nti kikwasa ensonyi okulaba ng’oludda oluvuganya lukugirwa okukuba enkung’aana ate nga ab’ekibiina kya NRM, bo bagenda mu maaso n’okukuba enkung’aana awatali abakomako.
“Twetaaga okunnyonyolwa lwaki ffe tetukkirizibwa kuyisa bivvulu ate ng’obutale n’ebisaawe by’omupiira bikola. Njawulo ki eriwo wakati w’olukung’aana lwa Ssemujju n’akatale,” Ssemujju bw’annyonnyodde ng’ajuliza ekya poliisi okumulemesa okuyisa ebivvulu oluvannyma lw’okwewandiisa okukiikirira Munisipaali y’e Kira.
Wabula bino akulira eby’empuliziganya ku kitebe kya NRM, Emmanuel Dombo, abiwakanyizza n’ategeeza nti ebiragiro bino tebirina munnabyabufuzi oba kibiina kye bitaliza.
Bino we bijjidde ng’abantu abaakazuulibwamu ekirwadde mu Uganda bawera 10,691 ate ng’abantu 97 entamu ezaabwe zavuunikiddwa.
Akakiiko k’ebyokulonda kaavaayo nekawera enkung’aana era ne kategeeza nti akalulu ka 2021 kagenda kunoonyezebwa mu ngeri ya ssaayansi okutangira ekirwadde kya Ssennyiga Corona.