Bya Ssemakula John
Kampala
Eyaliko Minisita wa guno na guli mu Bwakabaka bwa Buganda, Owek. Israel Mayengo, ategeezezza nti gavumenti eriwo kati eremeddwa okumalawo ebikolwa eyali Ssaabalabirizi Janani Luwum bye yafiirira.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2021/02/Mayengo.jpg)
Mu kaseera we yafiira, Omugenzi Luwum yali omu ku bannaddiini abaali ab’enkizo mu ggwanga ne ku Ssemazinga Africa olw’okulwanirira obwenkanya wamu n’eddembe ly’obuntu mu kiseera Pulezidenti Idi Amin we yakulemberera eggwanga.
Luwum yali Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda wakati wa 1974 – 1977. Ono yakwatibwa mu February 1977 era n’atemulwa mu kaseera katono wadde abakulu mu gavumenti baategeeza nti ono yali afiiridde mu kabenje.
Bw’abadde ayogerako n’ogumu ku mikutu gy’amawulire enkya ya leero, Owek. Mayengo, agambye nti kikuba ensonyi okulaba nti obulamu bwa Luwum n’ebyo bye yafiirira tebyabaleetera kwekuba mu kifuba, kuba bingi ku bino bikyaliwo.
“Ebintu bye yafiirira bikyaliwo; ekiwamba bantu, okutulugunya, ettemu n’ebikolwa ebirala bikyaliwo. Obulamu bwa Luwum bw’alina okutuleetera okwekuba mu mutima tukyuseemu.” Owek. Mayengo bw’annyonnyodde.
Mayengo ategeezezza nti olunaku lwa Luwum lulina okujjukirwa okusukka ku gavumenti eno kuba yali kyakulabirako ng’ayigirwako ku ebyo ebyamussa.
Ono alabudde nti ennaku nga olwa NRM olw’ameenunula ne Terehe Sita, kijja kuba kizibu okukuzibwa nga NRM evudde mu buyinza kuba aba NRM batandise okusaanyaawo ebyo bye baali bakoze olw’ebyo ebiriwo mu kiseera kino.
Kinajjukirwa nti olunaku lw’okujjukira Janan Luwum lukuzibwa buli mwaka nga 16/ February 2021 era ku luno emikolo emikulu giyindidde mu maka g’Obwapulezidenti e Ntebe era gikuziddwa mu ngeri ya Ssaayansi.