Musasi waffe

Mukaweefube w’okulwanyisa ekirwadde kya Covid-19, Ssaabasajja Kabaka byeyawaayo ebintu eby’enjawulo okuyamba abantube mu kwetangira wamu n’okulwanyisa ekirwadde kino ekikambwe.

Olwa leero ebintu bino bituusiddwa mu sitoowa za Gavumenti e Nakawa mu butongole.

Mu bino mubaddemu, ssabbuuni w’okunaaba mu ngalo, tank z’amazzi, gloves, mask, gambuutusi n’ebirala.











