
Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka asiimye naasimula omupiira ng’akabonero akazitongoza.

Omutanda era asiimye nateeka omukono gwe ku mupiira ogusambiddwa.

Katikkiro Charles Peter Mayiga nga aliko byalaga Ccuucu.

Abazannyi ba Mawokota nga beekubya ekifaananyi ekyawamu ng’omupiira tegunatandika.

Beene era awadde abakungu be abakulira ebitongole omukisa nebeekubya naye ekifaananyi.

Abamu ku baminisita ba Nnyinimu abeetabye ku mukolo guno.

Abamu ku bawagizi abazze okuwagira ttiimu yaabwe.

Bannamawokota nga basanyukira emu ku ggoolo zebateebye.










