Bya Stephen Kulubasi
Masengere – Mmengo
Ssentebe w’akakiiko akateesiteesi ak’Amatikkira ga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ag’omulundi ogwa 28 era omumyuka owookubiri owa Katikkiro, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa, afulumizza entegeka z’Amatikkira nga bwe zigenda okutambula.
Owek. Nsibirwa ategeezezza nti olw’okusoomoozebwa kwa Ssennyiga Corona, Amatikkira gano gagenda kubeerako abantu batono ddala era n’ebikujjuko ebikulembera Amatikkira bingi bisaziddwamu, okwewala abantu okukung’aana.
“Okwewala okusaasaanya Ssennyiga kolona, gavumenti yalagira abantu obutasukka 20 ku mikolo gyonna era ne ku mikolo gy’okujjukira Amatikkira bwe kigenda okuba ate nga beesudde amabanga. Bonna bajja kuba bakebeddwa okukakasa nti tewali mugenyi alina bulwadde bwa kolona.” Owek. Nsibirwa bw’ategeezezza bannamawulire ku Lwokubiri e Mmengo ku kizimbe kya Masengere.
Okusinziira ku Owek. Waggwa, ku Matikkira g’omulundi guno tekugenda kubaako basanyusa Beene olw’omuwendo gw’abantu oguyinza okweyongera singa abasanyusa abantu bayitibwa.
Era ku luno enteekateeka zonna ezikulemberamu emikolo gy’Amatikkira zisaziddwamu. Mu zino mulimu; omwoleso ogutegekebwa aba CBS POWESA, olusiisira lw’eby’obulamu n’okutongoza ekizimbe ky’eby’obusuubuzi ekizumbiddwa ku mbuga y’essaza e Kasangati.
“ Singa si bulwadde bwa kolona, Omutanda abadde yasiima atongoze ennyumba ezizimbibwa e Ssentema ze yalagira zizimbibwe, okuyambako abantu be okufuna ennyumba ennungi ku kibanja mpola so nga ate abadde yasiima okubaako b’akwasa ennyumba Obwakabaka bwe zaabazimbira ng’abantu abeetaaga okubeerwa.” Bw’atyo Owek. Waggwa bw’alambise.
Minisita Waggwa annyonnyodde nti olw’ekirwadde kino, Omutanda yasiimye bino byongezebweyo okutuuka ng’embeera eteredde.
Mu ngeri y’okukuuma obumu, Owek. Nsibirwa asabye abantu okwetaba ku Matikkira nga bayitira ku Terefayina ne laadiyo, era bagabule n’abantu baabwe mu ngeri ey’enjawulo ku lunaku lw’Amatikkira. Ono era esabye abantu okukozesa olunaku lwa 30 July olugenda okukulemberamu entikko y’emikolo ng’akasiki. Wano w’asabidde buli muntu okusimbayo waakiri omuti gumu ku lunaku luno olw’akasiki, bagende okutuuka enkeera ku Matikkira nga waliwo kye bagasse kukuuma obutonde bw’ensi ng’ezimu ku ntekateeka.
Kirambikiddwa nti ku lunaku lw’akasiki wagenda kubaawo okusimba emiti ku mbuga za Buganda zonna ng’enteekateeka eno egenda kukulemberwamu abatwala embuga ezo. Era ku lunaku lw’akasiki, buli muntu asabiddwa okukola bulungibwansi mu kitundu kye.
Kinajjukirwa nti Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II yatuuzibwa ku Nnamulondo nga 31 July 1993 era nga kati gigenda kuwera emyaka 28 ng’alamula Obuganda era yasiima emikolo gy’omulundi gino gikwatirwe mu Lubiri lw’e Nkoni mu Buddu era okusaba kwakulirwa Omulabirizi Henry Katumba Tamale.
Amatikkira g’omulundi guno gagenda kukuzibwa wansi w’omulamwa “Obuwangwa n’Ennono y’entabiro y’eby’enkulaakulana.”