
Bya Miiro Shafik
Salaama – Kyaddondo
“Kirungi ebikolwa by’omuntu okubeera obujulizi eri eddiini gy’akiririzaamu” Owek. Robert Waggwa Nsibirwa ebigambo bino abyogeredde Salaama ku mukolo gw’okwebaza Allah (Shukur) oluvannyuma lwa Hajjat Nulu Nanyunja okukomawo obulungi okuva mu Hijja.
Owek. Nsibirwa agamba nti ebikolwa by’omuntu bikulu nnyo okulaga eddiini gy’asoma okugyagazisa abalala n’okukolagana obulungi n’abantu. Akulisizza Hajjat Nanyunja okutuukiriza empagi y’Obusiraamu eyokutaano era amusabye obutasigala ky’ekimu wabula ayongere okubeera eky’okulabirako ekirungi eri abasiraamu n’abatali.
Owek. Nsibirwa yebazizza Hajjat Nulu Nanyunja olw’okukuza obulungi abaana be okuli n’abaweereza mu Bwakabaka kati, era awadde eky’okulabirako eky’omuyambi we Abdul-Aziz Mujuzi nti yakuzibwa nga musajja mukakkamu, muwulize ate teyeganya mirimu. Asabye abaana bonna okwongera okutambulira mu mbeera eggyayo ensigo gye basigiddwamu bazadde baabwe.
Omulangira Khalifan Lukanga Kakungulu abadde omugenyi omukulu ku mukolo guno, yebazizza Hajjat Nulu olw’okutuukiriza empagi ya Hijja ng’agamba nti abantu bangi nnyo bagigayaalira newankubadde nga balina obusobozi, bangi ne batuuka kuva mu nsi nga tebagituukirizza.
Omul. Khalifan asabye Hajjat Nulu oluvannyuma lwa Hijja eno okwongera okulongoosa mu maaso ga Katonda we, abeerenga wa mazima, mugumiikiriza era abeere ekifaananyi ekirungi eri abantu abalala.
Hajjat Nuliat Nanyunja yebazizza nnyo abaana be wamu n’abantu ababakwatiddeko okulaba nti ye n’abakyala abalala bagenze ku Hijja. Ono alaze essanyu engeri Allah gy’amusituddemu ng’omuntu era ategeezeza nti yesunga kuddamu kukola Hijja ndala.

Omukolo guno gwetabiddwako, Owek. Hajjat Mariam Nkalubo Mayanja, Owek. Rita Namyalo Waggwa, Omuk. Rolland Ssebuufu, Hajj Abby Mukiibi, Bamasheikh ab’enjawulo, abaweereza mu Bwakabaka, abooluganda n’emikwano n’abantu abalala bangi.









