Bya Francis Ndugwa
Bulange -Mmengo
Minisita avunaanyizibwa ku bavubuka, ebyemizannyo n’okwewummuza mu Bwakabaka, Owek. Henry Ssekabembe Kiberu, ategeezezza nti ebikolobero ebiri mu ggwanga okuli obulyake, obubbi, ettemu n’ebirala byonna si bya nsobi naye tuzze tubikolerera.
Bino Minisita Ssekabembe abyogedde atikkula oluwalo oluweza obukadde 15,289,500/= kulwa Katikkiro olwaleero ku Lwokubiri mu Bulange, okuva mu bibiina by’abakyala okuva e Kyaggwe ne Kyaddondo.
“Bino byonna bye mulaba okufaanana nga bwetufaanana tetutuukiddewo mu nsobi. Obulyake obuli mu ggwanga lino si nsobi, bwetuzze tukolerera, ebyawandiikibwa bigamba nti ky’osinga ky’okungula.” Minisita Ssekabembe bw’ategeezezza wakati mu kwennyamira.
Minisita yeewuunyizza ku bukyayi amaanyi n’ettemu abavubuka bye bakozesa ku bannaabwe nga babawamba n’okubatulugunya. Bw’atyo asabye abantu okuddayo okwetegereza amaka mwe bakuliza abaana.
Owek. Ssekabembe agamba nti abazadde ku njuuyi zonna basudde obuvunaanyizibwa bwabwe era n’ajuliza Bbayibuli n’asaba abaami okuvaayo balwanirire abaana baabwe ne bakyala baabwe olwo ne Katonda anaalwanira wamu nabo. Owek. Ssekabembe ategeezezza nti Buganda bw’eba eyagala okubeera ey’oluberyeberye eteekeddwa okukola ebintu byayo byonna mu ngeri ey’obusukkulumu.
“Buganda egenda ku ntikko, liba eggwanga eryeteeseteese okukola buli kye tuteekeddwa okukola ne tukisoosowaza era ne tukikola mu nkola ennungi ey’obumalirivu.” Owek. Ssekabembe bw’agambye.
Minisita Ssekabembe atenderezza omukwano abantu ba Kabaka gwe balina awamu n’obuwagizi obw’enjawulo bwe b’olesa awatali kwebalirira nti gano ge maanyi agazimbirwako Obwakabaka mu nkola ya Bulungibwansi.
“Njagala okubeebaza olwo Oluwalo kuba sikyangu ensangi zino naddala mu COVID okukola nga bwe mukoze. Naye era nga bulijjo ntera okubajjukiza nti amaanyi gaffe gajja kupimibwa mu kaseera ak’okusoomoozebwa.” Minisita Ssekabembe bw’agambye.
Ate Minisita omubeezi owa Gavumenti ez’Ebitundu, Owek, Joseph Kawuki, yeebazizza abakyala bano olwokufaayo okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe ng’Abaganda.
Abakulira ebibiina by’abakyala ebikiise Embuga okuli; Nakafu Esther n’Owek. Jane Francis Lukwago, bawozezza Olutabaalo nga muno mwe mubadde bye basobodde okutuukako ebibasoomooza n’enteekateeka ze balina okulaba nga beekulaakulanya.
Bano bawerekeddwako Abaami abatwala Amasaza gye bavudde era bano baweze okusigala nga bakulemberamu abantu okubeetabya mu buli nteekateeka y’Obwakabaka.
Oluwalo luno luvuddemu ensimbi eziwerera ddala nga abakyala okuva e Kyaddondo bawaddeyo ensimbi Ugx. 10,860,000 ate ab’eKyaggwe bebasonda ssente eziweze 3,679,500/