• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Ebika ly’ettofaali ekkulu mu kuzimba Obuganda – Owek. Wamala

Gambuuze by Gambuuze
October 11, 2024
in Amawulire
0 0
0
Ebika ly’ettofaali ekkulu mu kuzimba Obuganda – Owek. Wamala
0
SHARES
202
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Najib Nsubuga

Kyaggwe

Minisita w’Obuwangwa, Embiri, Amasiro, Obulambuzi n’Ebyokwerinda, Oweek. Anthony Wamala, akubirizza abazzukulu bonna okussa amaanyi mu kuzimba ebika byabwe kuba ebika ly’ettoffaali ekkulu mu kuzimba Buganda.

Okwogera bino, Oweek. Wamala, abadde Kyaggwe mu kulambula obutaka bw’ekika kye Kibe ne Njaza.

“Ekika kye kitufuula abaganda era ye Bulooka ezimba Obuganda. Olw’obukulu bw’ebika mu kuzimba Buganda, kitukakatako okubizimba binywere bwe tuba ba kuzimba Buganda eggumidde era ey’oku ntikko.” Oweek. Wamala bw’ategeezezza.

Minisita ategeezezza nti ekigendererwa ky’okukyalira ebika kwe kusobozesa Obwakabaka okumanya embeera ebika gye birimu omuli okuzuula amaanyi gaabyo n’okusoomoozebwa kwe birina, olwo basalire wamu amagezi okubibbulula n’okubizimba.

Wano Minisita azzeemu okuggumiza ensonga ennya Obwakabaka kwe butadde essira mu kuzimba ebika okuli okunyweza obukulembeze, okukuuma ebyobugagga, okutandikawo emirimu gy’enkulaakulana n’okwagazisa abazzukulu okujjumbira ebika byabwe.

Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka b’Obusolya, Omutaka Nnamwama Augustine K. Mutumba, yeebazizza Abataka n’abazzukulu olw’okwagala n’okujjumbira ebika byabwe.

Abategeezezza nti newaakubadde tuva mu bika eby’enjawulo, ffenna tuvunaanyizibwa kyenkanyi okukola ebizimba ensi yaffe. Abakubirizza okufuba okukuuma ebyaffe n’okubyagala okusinga okwettanira eby’abagwiira.

Mu bubaka bw’atisse atwala ekitongole ky’abakyala ku ssaza, Omuky. Nakafu Esther, Ssekiboobo, Oweek. Vincent Matovu Bintubizibu, asabye abakulu b’ebika abali mu Kyaggwe okwetabanga mu ntuula z’olukiiko lw’essaza, okuteeseza awamu n’okuvaayo n’ebirowoozo ebikulaakulanya ebika n’essaza okutwalira awamu.

Omutaka Muyige, Sulaiman Kinaalwa wamu ne bazzukulu be, balaze obwennyamivu olw’obutaka bwabwe obusangibwa e Wantaayi obwawambibwa era nga mu kiseera kino tebasobola na kukolerako mikolo gya buwangwa na nnono. Basabye Minisita okubayambako okulaba ng’ensonga eno etereezebwa.

Omutaka Kitanda, Samuel Bakisuula Kiwanuka, yeebazizza nnyo Minisita ne Omukubiriza olw’okubakyalira. Avumiridde nnyo abazzululu abavvoola obuwangwa n’ennono naddala abayabizaawo ennyimbe nga baakava e magombe nga beekwasa eddiini ze basoma.

Olugendo luno Minisita yalutandise n’okukyala ku mbuga y’essaza e Ggulu, Mukono, nga yayanirizibbwa Ssekiboobo, Oweek. Vincent Matovu Bintubizibu. Okulambula kwetabuddwamu atwala ebyobuwangwa mu Kyaggwe, Omw. Sekabembe Patrick, Mumyuka Nakifuma, Omuky. Namugambe Angella Musoke, Omumyuka wa Mut. V. Nyenga, Ssaalongo John Nalwamba.

Abalala kubaddeko akulembera abavubuka abawala mu ssaza Omuky. Nakayinda Peninah, Oweebyobuwangwa mu Mut. I Nakisunga, Omw. Luyombya Godfrey, Katikkiro wa Muyige, Omw. James Mukasa Mulinde n’abamyuka be, Katikkiro wa Kitanda, Hajj Muhamood Kalyowa n’abamyuka be, Abaamasiga n’abakulembeze abalala mu bika byombi n’abaweereza ba Ssaabasajja Kabaka abalala ku mitendera egy’enjawulo.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.