Bya URN
Ekitongole ekikola ku by’ebigezo mu ggwanga ekya
Uneb, kikutte ebyava mu ebibuuzo byabaana 120 okuva awaatuulirwa 26 olw’okwenyigira
mu kukkoppa.
Dan Odong, akulira Uneb
agambye nti obubbi buno bwasinze kweyolekera mu masomo ga sayansi.
“Omuze gw’okuyamba
kubayizi, okukyusa empapula, okuyingiza mu kisenge awakolebwa ebibuuzo ebintu
ebitakkirizibwa, n’okukolera ebaana ebibuuzo byebyasinze okweyoleka,” Odongo
bweyagambye.
Omwaka oguwedde Uneb yakwata ebibuuzo bya baana 91 okuva mubifo awatuulirwa 21.
Akulira Olukiiko olufuga Uneb, Pulofeesa Mary Okwakol yagambye newankubadde omuze g’okubba ebigezo gukeendedde, bajja kugenda mumaaso nga basalira amagezi omuze guno.
“Okubba ebibuuzo kukendedde nnyo ku daala lya UACE,”Okwakol bweyagambye.
Uneb omwaka oguwedde yassaawo engeri ez’enjawulo ez’okuziyizaamu
abantu okubba ebibuuzo muno mwalimu, okussa kkamera enkessi gyebateleak n’okugololera
ebibuuzo wamu n’okongera abasirikale mu kukuuma ebibuuzo.
Abayizi ebibuuzo byabwe ebikwatiddwa baakugenda ku Uneb bawulirizibwe.
Abo abanaasangibwa nga tebalina musango, ebibuuzo byabwe byakuteebwa
Abayizi 103,429 bebaatuula ebigezo omwka oguwedde.