
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye neyeekubya ekifaananyi ne kkabineeti ye.

Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka nga ayogerako eri Obuganda mu Lukiiko olwa 31.

Beene nga awayaamu ne Katikkiro Charles Peter Mayiga.

Ccuucu ng’alamusa ku bantu be ababadde bakungaanidde mu bimuli bya Bulange.

Omumbejja Katrina Ssangalyambogo, Omulangira Jjunju n’Omulangira Wasajja nga bali mu Lukiiko olwa 31.

Baminisita ba Kabaka nga bagoberera ebigenda mu maaso mu Lukiiko.


Abamu ku bakiise b’Olukiiko nga bawuliriza ensonga.

Owek. Anthony Wamala nga awera mu maaso g’Empologoma okutuukiriza obuvunaanyizibwa obwamuweereddwa.










