• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Ebibadde mu Nsisinkano ya Katikkiro Mayiga n’Abataka Abakulu b’Obusolya

Gambuuze by Gambuuze
November 19, 2025
in Amawulire
0 0
0
Ebibadde mu Nsisinkano ya Katikkiro Mayiga n’Abataka Abakulu b’Obusolya
0
SHARES
503
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Miiro Shafik

Mmengo – Bulange

Katikkiro Charles Peter Mayiga asisinkanye Abataka Abakulu b’Obusolya ne ba Katikkiro baabwe mu nsisinkano yaabwe eya buli mwaka etudde mu Bulange e Mmengo.

Katikkiro Mayiga wano w’asinzidde n’asaba Abataka Abakulu b’Obusolya okunyiikirira ensonga eziyitimusa Ebika bisobole okuddamu omuggundu n’okugatta ku kiruubirirwa eky’okuzza Buganda ku ntikko. Wano abajjukiza ennyingo 6 Kabaka ze yabalambika mu bubaka bwe yawereza nga 18/09/2025 mu lukiiko lw’Abataka olw’enjawulo era olwatuula mu Bulange e Mmengo.

“Ebika ly’essiga lya Buganda okwetoololerwa obulamu bw’Omuganda obwa bulijjo; mu kutuuma amannya, emikolo egy’obuwangwa, n’ebirala. Kale kirungi bwe tunyiikirira ensonga eziyitimusa Ebika byaffe” Katikkiro Mayiga.

Owoomumbuga ajjukiza Abataka ensonga zino 6 ezaali mu bubaka bwa Nnyinimu obwa 18/Mutunda/2025;

1. Okwejjukanya ebyafaayo by’Obwakabaka.

2. Okumanya nti Kabaka ye Ssaabataka era ye ky’ekitikkiro.

3. Okutumbula enkulaakulana mu Bika.

4. Abaana b’Abataka okusomesebwa.

5. Okuwagira bazzukulu bammwe abaliko eby’amaanyi bye bakoze.

6. Okunyweza obukulembeze mu Bika, buli Kika kibeere ne Katikkiro n’olukiiko olufuzi era banyulwe n’eri Ssaabataka.

Owek. Mayiga wano era akalaatidde ba katikkiro b’Ebika okulondoola enteekateeka z’Ebika n’okulungamya enkiiko ezikulembera Ebika olwo bawabule Abataka b’Obusolya kw’ebyo ebirina okukolebwa mu kukulaakulanya Ebika.

Owoomumbuga yebazizza Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka Omutaka Nnamwama Augustine Kizito Mutumba olw’okutumbula obumu mu Bataka era n’abasaba okutambulira awamu n’abakulembeze abalala abakulembererako Ssaabasajja Obuganda.

Ye Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka, Nnamwama Augustine Kizito Mutumba alambuludde ezimu ku nteekateeka ze bataddeko omulaka mu Bika; omuli enkiiko eza buli mwezi, omusomo ku buwangwa n’ennono, okulamaga ku Butaka n’ebirala.

Ono yebazizza Katikkiro ne Kabineeti ya Kabaka olw’omulimu gwe bakola ku ludda olw’Ebika, obuwangwa n’ennono era ategeezeza nti enkola ya Minisita w’Obuwangwa n’Ennono okulambula Ebika ebakoze bulungi ddala.

Omutaka Nnamwama era aliiko ensonga n’ategeezezza Katikkiro, olukiiko lw’Abataka ze lwagala zitunulwemu omuli; Abataka abaggya okwanjula Embuga, okuddaabiriza ebibumbe by’Ebika, n’Elensonga endala ez’enkizo era Katikkiro amuwadde obweyamu nti zikolebwako era zijja kugguka.

Ensisinkano yetabiddwamu Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Owek. Patrick Luwaga Mugumbule, Minisita w’Obuwangwa n’Ennono Owek. Anthony Wamala ne Minisita Israel Kazibwe Kitooke ow’Amawulire, Okukunga Abantu era Omwogezi w’Obwakabaka.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.