Bya Noah Kintu
Ssembabule
Abatwala eddwaliro lya Ssembabule Health Centre IV era nga ly’ekkulu mu kitundu kino bali mu kattu olw’ebbula ly’abasawo ku ddwaliro lino ekireetedde abalwadde obutafuna bujjanjabi mu budde.
Amyuka akulira eddwaliro lino, Francis Arinaitwe, akkiriza nti ekizibu ky’abasawo abatono weekiri naye baakituusaayo dda mu Minisitule y’ebyobulamu nebabasuubiza okubongera ku basawo.
“Abalwadde baffe beemulugunya nti balwawo nnyo mu ddwaliro naye ekizibu kino kiva ku balwadde abayitirira obungi ate ng’eddwaliro ntono. Eddwaliro lyaffe tulina emirimu mingi ate ng’abasawo batono.” Arinaitwe bw’annyonnyodde.
Ono obungi bw’abalwadde abutadde ku muwendo gw’abantu ogweyongedde mu kitundu kino era ng’agamba nti ekiseera kituuse eddwaliro lino lisumusibwe okuteekebwa ku mutendera gwa Hospital kubanga bakola ku ndwadde nnyingi okusinga omutendera gwa Health Centre IV.
Arinaitwe annyonnyodde nti bakola buli ekisoboka okulaba nga bamalawo eky’abasawo okwebuzaabuza ku mirimu wamu n’ebigambibwa nti abamu ku basawo baggya ku balwadde ssente naye tebannafuna bujulizi bwonna.
Kino kiddiridde abalwadde abawerako okukandaalirira ku ddwaliro lino okutuuka akawungeezi nga tebafunye bujjanjabi kye bagamba nti kibamalira ebiseera ate ng’abamu bava wala.
Arinaitwe asabye bannamawogola okugumiikiriza embeera eriwo n’asuubiza nga Minisitule bw’etandise okukola ku kusaba kwabwe.
Gyebuvuddeko, abasawo wamu n’abajjanjabi ku ddwaliro lino beekalakaasizza nga bawakanya embeera mwe bakolera n’okuyisibwa obubi ku mirimu n’obutabeera nabikozesebwa.