• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Eby'Obulamu

Ebbugumu lyeyongedde mu mijoozi gy’emisinde gya Kabaka

Gambuuze by Gambuuze
November 20, 2021
in Eby'Obulamu
0 0
0
Ebbugumu lyeyongedde mu mijoozi gy’emisinde gya Kabaka
0
SHARES
68
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Katwe – Kyaddondo

Ebbugumu lyeyongedde mu kutunda emijoozi gy’emisinde gy’Amazaalibwa ga Ssaabasajja era abantu b’Omutanda mu kitundu ky’e Makindye n’akatale ka Ssaabasajja ak’e Katwe  be beetabye mu nteekateeka eno.

Mu nteekateeka ekuliddwamu BBS Terefayina, abantu ba Kabaka mu butale okuli; Bwayise, Nakulabye n’ebitundu okuli Ndeeba ne Katwe, baguze obujoozi buno kumpi ku bumalawo.

Bano basiimye Omutanda olw’okutumbula embeera z’ebyobulamu bw’abantu ng’ayita mu nsisira z’ebyobulamu  kw’ossa n’enteekateeka ey’emisinde nga buli mwaka abaako ekirwadde ky’asiima okulwanyisa.

Ssentebe w’akatale k’e Katwe, Ssenkungu Levis y’akwasiddwa  emijoozi okukulemberamu omulimu gw’okugitunda mu basuubuzi okulaba ng’ekigendererwa ky’emisinde gino kigguka bulungi, bw’atyo asabye abasuubuzi okujjumbira enteekateeka eno.

Akulira entambuza y’emirimu ku ttiivi y’Obwakabaka eya BBS Terefayina, Steven  Dunstan Busuulwa agamba nti batandise kaweefube  w’okusembereza abantu emijoozi mu bitundu byabwe, era  waakugendera ddala mu maaso okutuukira ddala ku lunaku olwa 28 emisinde lwe ginaabeerayo.

Kinajjukirwa nti Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II yawaayo emisinde gino okwongera okulwanyisa ekirwadde kya Mukenenya wansi w’omulamwa ogugamba nti, “Abaami tubeere basaale okulwanyisa ekirwadde kya Mukenenya tutaase abaana aboobuwala.”

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist