
Bya Ronald Mukasa
Mengo – Kyaddondo
Mukuumaddamula Charles Peter Mayiga asabye abantu okwongera okulima emmwaanyi basobole okwekulaakulanya n’okweggya mu bwavu.
Obubaka buno Owek. Mayiga abutisse Amyuka Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Oweek. Ahmed Lwasa bw’abadde amukiikiridde okutikkula Bannabuddu oluwalo ku Lwokubiri e Bulange Mmengo. Oweek. Lwasa akubirizza Bannabuddu bulijjo okutaasa n’okukuuma Obutonde bw’ensi nga bayita mu kusimba emiti ginnansagwa okusobola okwenganga ebizibu ebyenjawulo ebiva mu kwononeka kw’obuttonde Bw’ensi mu kitundu kyabwe.
Ono era akunze Abaami ba Kabaka okukwata omumuli mukutaasa Obutonde bw’ensi okusingira ddala e Kyazanga gy’agamba nti mukyeya abantu ba Beene bayita mu buzibu bungi. Owek Lwasa bannabuddu abakubirizza okunyiikira okulima emmwanyi awatali kwelaliikira miwendo gya Mmwanyi kubanga bulijjo ku katale, ebintu birinya ebbeeyi ate ebiseera ebimu ebbeeyi n’ekka,wano waabasabidde okukozesa obulungi ensimbi ze baggya mu mmwaanyi nga basomesa abaana baabwe mu masomero ge basobola era nasaba okwetaba buterevu mu nkiiko ezirungamya enzirukanya y’amasomero gano olwo lwe banafuna ebibala okuva mu baana baabwe.

Owek. Lwasa era abasabye okukuza abaana baabwe obulungi nga babatangira okuyiga emize emikyamu okusobola okukendeeza ku bumenyi bw’amateeka obuviriddeko abalimi b’emmwaanyi eludda eyo okusula kutebuukye nga bakuuma emisiri gyabwe.
Minisita wa gavumenti ez’ebitundu okulambula kwa Kabaka n’ensonga za Buganda ebweru, Owek. Joseph Kawuki asabye bannabuddu okusingira ddala Abaami ba Kabaka okulonda abantu abalina obusobozi sso si mikwano gyabwe gyokka, wabula abaagala okuweereza ate nga balina obusobozi. Owek. Kawuki era Bannabuddu abalabudde ku bannakigwanyizi abeekulubeeseza ku bwakabaka kyokka nga balabe nnamba emu eri Nnamulondo.

Omukolo guno gwetabiddwako abakulembeze okuva e Buddu mu biti ebyenjawulo nabantu abalala bangi nga bano baleese oluwalo lwa bukadde bwa silingi 16 bulamba.









