• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Uncategorized

Dr. Besigye agamba gavumenti emanyi abatemu b’ebijambiya

Gambuuze by Gambuuze
September 14, 2021
in Uncategorized
0 0
0
Dr. Besigye agamba gavumenti emanyi abatemu b’ebijambiya
0
SHARES
105
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Kampala

Eyavuganyako ku bwapulezidenti era munnakibiina kya  Forum for Democratic Change (FDC), Dr. Kizza Besigye  ategeezezza nga gavumenti bw’emanyi obulungi abali emabega w’ebijambiya ebiri mu kitundu ky’e Masaka era abanoonyereza tebalina kugitaliza.

Abatemu b’ebijambiya baazingako ekitundu ky’e Buddu era olwaleero we lutuukidde ng’abantu abasoba mu 30 be baakafiirwa obulamu bwabwe ate ng’abalala bapooca n’ebisago era nga waliwo abakwate 23 ku ttemu lino omuli; ababaka Muhammad Ssegiriinya owa Kawempe North ne Allan Ssewanyana owa Makindye West.

Dr. Besigye ategeezezza nti ensonga z’ettemu lino tolina bw’osobola kuziggyamu gavumenti era y’erina okusooka okunoonyerezebwako.

“Gwe nsooka okuteebereza ye gavumenti. Addako ye muntu alina obutakkaanya ne gavumenti naye tolina ngeri gy’osobola kuggya gavumenti mu ttemu lino.” Besigye bw’agambye.

Ono agamba nti wakati ng’okunnoonyereza ku bateeberezebwa abalala nga kugenda mu maaso, ne gavumenti erina okubuulirizibwako kuba tesobola kwenoonyerezaako nga yo.

“Eno y’ensonga lwaki Uganda twagitwala mu kkooti y’ensi yonna kuba tasobola kwenoonyerezaako.Twetaaga okunoonyereza ku gavumenti eno ku butemu bw’ebijambiya.” Besigye bw’annyonnyodde bannamawulire.

Besigye alumiriza gavumenti gye yaleeta mu buyinza mu 1986 ekulemberwa Pulezidenti Museveni okukola obutabanguko obwengeri yonna, nga kibeera kikyamu okulowooza nti gavumenti terina ky’emanyi ku ttemu eriri mu Buddu kuba Pulezidenti Museveni azze ayawulayawula mu bantu.

Ono asaasidde famire z’abantu abakoseddwa ettemu lino era n’asaba bannamasaka okusitukiramu beekuume era bayambeko okulaba ng’abantu ababakozeeko obutujju buno bavunaanibwa mu mateeka kuba obutemu bwe buti si bupya wadde gavumenti bulabikanga obugiremeredde.

Share this:

  • Twitter
  • Tumblr
  • Pinterest
  • Pocket
  • WhatsApp
  • Skype
  • Telegram
  • LinkedIn
  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist