Bya Pauline Nanyonjo
Mmengo-Kyaddondo
Munnakatemba era akulira ekibiina kya Ebonies Sam Bagenda amanyiddwa ennyo nga Dr. Bbosa akiise embuga wamu ne bannabitone abalala okuwooza olutabaalo eri Katikkiro ku Bulange e Mmengo olw’obulamu bwe nga azannya katemba okumala emyaka 41 mw’awandikidde n’ekitabo ‘Dr Bbosa’s 5Ps’ n’okumutegeeza ku kivvulu kyategese nga 29 Muwakanya 2026 ku Theatre Labonita.

Dr. Bbosa anyonyodde nti ekyamuwandiisa ekitabo ekyo kwe kwagala okugabana n’abavubuka ab’omulembe guno kw’ebyo ebimusobozeseza okuwangalira mu mulimu gwe okuli; “Okusaba (Prayer), Okulemerako (Persistance), Obutenyooma (Positivity), Obugumikiriza (Patience), Okwagala (Passion) bye yanyonyola mu bujjuvu nti singa omuntu yenna aba abigoberedde afuna enkyukakyuka mu bulamu bwe.
Dr Bbosa aloopye ekivvulu kye embuga kye yatuumye ‘Dr Bbosa’s thanks giving Bonanza’ nga yebaza Katonda n’abantu abamuwagidde mu myaka 41 ng’azannya emizannyo kyokka kw’olwo lw’ajja okutongoza Foundation ye eya ‘Dr Bbosa’s Foundation’ egendereddwamu okukuza ebitone by’abavubuka abawangalira mu ghetto nga balina ebitone.
Katikkiro asinzidde mu nsisinkano eno n’atangaaza ku byogerwa ku mitimbagano ku nsonga lwaki bannabitone bakiika embuga oluvannyuma lw’okutegeka ebivvulu nga bekwasa nti y’alina masanyalaze.
“Ekituufu nze sirina masanyalaze, siri na munnabitone kuba nze ndi munnamateeka, ndi mukulembeze era siri mu kisaawe kya bitone naye nze nzikiriza nti munnabitone ye yennyini y’alimu amasanyalaze kuba nze nga Katikkiro omulimu gwange gwa kuyamba bannabitone okutegeera nti balina amasanyalaze kuba amasanyalaze gava ku bitone Katonda by’awa omuntu” Katikkiro Mayiga.
Katikkiro ayongeddeko nti bannabitone bangi balina amasanyalaze naye tebakimanyi oba oluusi tebamanyi ngeri yakugakozesaamu kyokka Bulange ye Embuga buli muntu we yeyagalira, nga bannabitone bajja okufunawo emikisa n’okumanya ebifa embuga.
Oweek Mayiga akuutidde abantu bonna okumanya obukulu bw’emirimu gyabwe, banyirize bye bakoka okusobola okuwangaalira mu kisaawe ky’emirimu nga tebakowebwa abo be baweereza. Mu ngeri y’emu asiimye Dr. Bbosa olw’okulemerako, nawaayo obudde okukuza ekitone kye n’agumiikiriza ebisomooza byonna ebiri mu mulimu gwe ogwo.

Minisita wa Kabaka atwala bannabitone Robert Sserwanga Ssaalongo asiimye Dr.Bbosa olw’okukozesa ebitone okukyusa obulamu bwe nafuuka eky’okulabibwako ekirungi.









