Bya Ssemakula John
Kampala
Ekibiina kya Democratic Party (DP) kirayidde okwasanguza abakozi ba gavumenti ababulankanya ssente za COVID-19 ezirina okuyamba abantu mu mbeera ya COVID19.
Bwe babadde boogerako eri bannamawulire, omwogezi w’ekibiina kino, Okoler Opio Lo Amanu, yategeezezza nti enteekateeka eno eruubirirwa okukunga bannayuganda okukyawa abalyi b’enguzi.
“Tusaba gavumenti ebonereze abo abakozesa obubi ssente za COVID-19 awatali ekyo DP egenda kutandika kaweefube gwe tutuumye ‘name and shame,” Okoler bwe yagambye.
Omwezi oguwedde, Minisita w’ebyobulamu, Dr. Jane Ruth Aceng, yalabula bannabyabufuzi n’abantu ba bulijjo bakomye okubalangira obulyake kuba bagezaako nnyo okubeera abeerufu.
Aceng yategeeza eggwanga nti eby’okutiisatiisa ab’ebyobulamu kibamalamu amaanyi ate nga balina okukola ennyo okulwanyisa ekirwadde kino.
DP egamba nti ekya gavumenti okusumulula mu muggalo nga tetaddewo nteekateeka emala okuziyiza ekirwadde kya Corona kiteeka eggwanga mu katyabaga k’okudda ku muggalo.
Bano bagamba nti kaweefube w’okwasanguza abalyake agenda kutandika mu bwangu singa gavumenti tevaayo kuvunaana bakozi baayo bano abakozesa obubi woofiisi zaabwe n’okufiiriza eggwanga ensimbi eziwerako.