Bya Gladys Nanyombi
Kampala
Ekibiina kya Democratic Party (DP) kitegeezezza nga bwe kitandise kaweefube w’okunoonya bannakibiina bonna abaali baatwalibwa omuyaga gw’ebyobufuzi wabula n’eyo gye baddukira nebayisibwa nga eky’okutale, nti beetegefu okubaaniriza.
Okusinziira ku bakulu mu kibiina kino, bannakibiina bangi baafuna obutakkaanya n’abakulu era nebakivaamu nga kaweefube ono atuumiddwa ‘KOMAWO EKA’ okusobola okuzza ekibiina kino engulu wakati nga beetegekera akalulu ka 2021.
Kinajjukirwa nti ababaka abawerako abeegattira mu kisinde kya DP Bloc baddukira mu kibiina kya National Unity Platform (NUP) ekikulemberwa Omubaka Robert Kyagulanyi nga balumiriza Ssenkaggale Nobert Mao okubayisaamu amaaso n’okuyisaamu ssemateeka w’ekibiina olugaayu.
Kaweefube ono alangiriddwa omwogezi wa DP omuggya Okoler Opio Lo Amanu mu lukung’aana lwa bannamawulire olwa buli wiiki leero ku Lwokubiri wano mu Kampala.
“Tutandise kaweefube nga tumuyise Komawo eka weebake eri baganda baffe abamu abaagenda nga batya okudda nti tetugenda kubaaniriza. Naye ffe tutandise kaweefube okubakimayo yonna gye baddukira.” Okoler Opio bw’agambye.
Opio ategeezeza nti abaava mu DP gyebaalaga embeera mwe bayisibwa si nnungi wabula nga bo nga DP tebabagobangako bw’atyo n’abasaba badde eka kubanga eno ye waabwe.
Ono annyonnyodde nti bannaabwe gye baalaga tebeetaaya era nga kibabeeredde kizibu okwegazanyiza mu by’obufuzi by’ebibiina gye baalaga. Balina okukimanya nti DP ebirowoozo byabwe ebimanyi era ebyaniriza era nneetegefu okubawuliriza.
Ekibiina kino kyasinzidde mu lukung’aana luno nekinenya Pulezidenti Museveni ku kiragiro kyeyawa nga kiggulawo amasizinzo bwe yakkiriza abantu 70 bokka mu buli Ssinzizo n’etegeeza nti waakiri Museveni yandikkirizzaako ebitundu 50 ku buli 100, abantu nebasobola okuweebwa eddembe ly’okusinza.
“Pulezidenti yagamba nti mu buli Ssinzizo mubeeremu abantu nsavu naye ffe nga aba DP tulowooza nti ekyo si kya bwenkanya kubanga amasinzizo gano omuwendo gw’abantu abatulamu si gwe gumu.
Ekkanisa y’e Namirembe w’eba etuuza abantu 2000, leka etuuze ekitundu ky’abo nga bwekyakolebwa bwe yali aggulawo entambula y’olukale.”
Okoler Opio b’agambye.
Okoler Opio era akungubagidde eyaliko Mmeeya wa Kampala,Al- Hajji Nasser Ntege Sebaggala eyafudde ku Lwomukaaga lwa wiiki ewedde. Ategeezezza ng’ono bw’ali omu ku basajja abaayimirirawo okuzimba ekibiina kya DP.
Atenderezza omulimu ogwakolebwa Sebaggala bweyavaayo n’alaga abantu nti basobola okwekkiririzaamu era nebasobola okubeera ekyo kye baagala.