Bya Ssemakula John
Kampala
Ekibiina kya Democratic Party (DP) kirabudde ab’ekisinde ekipya ekya People’s Front for Transition (PFT) ku kibinja kya Samuel Walter Lubega Mukaaku ne banne, nga kigamba nti bano tebalina kwesigibwa kuba ekiseera kyonna tebaba na mugongo.
DP egamba nti Mukaaku ne banne bamanyi okwerimbika mu kibiina kya DP ne batuukiriza ebigendererwa byabwe ng’abantu .
Kinajjukirwa nti bwe baabadde batongoza ekisinde kino, Mukaaku wamu ne bannabyabufuzi abalala bayanjuddwa ng’aba DP Block. Wabula omwogezi wa DP, Okoler Opio Lo Amanu agamba nti ekibiina tekyakiikiriddwa muntu yenna mu kutongoza ekisinde kino.
“Ekibiina kya DP kyewuunyizza nnyo olwa Kalinge Nyago n’abalala okuli Samuel Lubega Mukaaku, Sulaiman Kidandala, Kenneth Paul Kakande, Vincent Mayanja ne Christine Ikiria, okweyanjula ng’abakulembeze ba DP Block mu kisinde ekipya.” Okoler.
Okoler agamba nti bano baaliko bannakibiina kya Democratic Party wabula ekibiina ne bakivaamu olw’ensonga ezaategeezebwa ensi yonna nga noolwekyo kikyamu okweyita kye batali.
“Abamu baagala kwekkusa ate tebalina mpisa, emabegako beeyanjula ng’aba DP Bloc bwe baali baagala okwegatta ku kibiina kya National Unity Platform (NUP). NUP twagirabula era n’esobola okubeesamba era n’ebamma ne tiketi z’ekibiina kwe baalina okwesimba mu kalulu. Bano be bantu abaalemesa omukago wakati wa DP ne People Power mu kalulu akawedde.” Okoler bwe yannyonnyodde.
DP bano ebawadde amagezi, ekisinde kino ekikulirwa Dr. Kizza Besigye bakiyingire ku lwabwe ng’abantu naye si nga DP Block, kuba DP Block tesobola kuyingira mu kintu kyonna nga DP yennyini tekiriimu.
Aba DP basabye abatandisi b’ekisinde ekipya obutasaagira mu nsonga eno kuba abasinga ku bannabyabufuzi bano abeeyise aba DP Block, ebintu bibadde bibasobedde nga tebamanyi watuufu we balina kulaga mu by’obufuzi.
Ku kyokutandika ekisinde kino ekipya, DP egamba nti kkubo ttuufu era ekyaniriza era nneetegefu okukolagana n’omuntu yenna oba ekibiina ekirina ekigendererwa ky’okununula bannayuganda okubaggya mu mikono gya Pulezidenti Museveni.