Bya Ssemakula John
Kampala
Ssenkaggale w’ekibiina kya Democratic Party (DP), Norbert Mao, ategeezezza nti olunaku lumu ekibiina kye kigenda kutwala obuyinza kikulembere bannayuganda.
Mao bino abitegeezezza bannamawulire abamusanze ku kitebe ky’ekibiina kye mu Kampala ku Lwokubiri n’agamba nti wadde baakoze bubi mu kalulu ka 202, naye basuubira okutwala obuyinza mu bwangu.

“Musobola okumpita omulalu naye olunaku lumu DP egenda kulembera eggwanga lino. Nnyinza okuba si nze nja okulangirirwa nga Pulezidenti naye nsuubiza bannakibiina nti olunaku lumu DP egenda kulembera Uganda. Kino tekiri wala kuba Uganda yeetaaga obukulembeze obutambulira ku mazima n’obwenkanya.” Mao bw’agambye bannamawulire.
Mao annyonnyodde nti wadde DP emaze emyaka egisoba mu 57 naye tennasobola kufuna mukulembeze wadde ng’ekibiina kirina omusingi ogusobola okuvaamu omukulembeze.
Mao nga naye yavuganya my kalulu akawedde, ategeezezza nti kyabusiru omuntu yenna okulowooza nti akalulu ka 2021 kaabadde k’amazima.
Ebyafulumizibwa akakiiko k’ebyokulonda byalaga nti ku bululu bwonna obwakubibwa, Pulezidenti Museveni yawangula n’ebitundu 58.38 %, Mao n’afunako ebitundu 0.56% byokka.
“Tuzzeemu okuyita mu kalombolombo nga tukuyita okulonda. Kibeera kikyamu okugamba nti akalulu kaali k’amazima n’obwenkanya. Kano kaali kalombolombo naye ate mu byakolebwa, bannayuganda be baafiirwa.” Mao bw’agasseeko.
Mao annyonnyodde nti bagenda kwekung’aanya bagende mu maaso n’okuzimba eggwanga wamu n’okulafubana okulaba nga demokulaasiya abukala mu ggwanga era baakufuba okulaba ng’eddembe lya bannayuganda lissibwamu ekitiibwa.
Ono akakasizza nti ekibiina kikyaliwo era kikyagenda mu maaso kuba DP yazimbibwa ku lwazi era tekisobola kusaanyizibwawo.