• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Disitulikiti zisabiddwa okuzza ebintu bya Buganda

Gambuuze by Gambuuze
September 9, 2020
in Agafa e Mengo
0 0
0
Disitulikiti zisabiddwa okuzza ebintu bya Buganda
0
SHARES
20
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Gerald Mulindwa

Mukono

Minisita omubeezi owa gavumenti ez’ebitundu mu Bwakabaka bwa Buganda asabye abakulira zi disitulikiti ez’enjawulo okuzza ebintu bya Buganda byonna byebakyalina mu bwangu kiyambe Obwakabaka okubiganyulwamu.

Okwogera bino Owek. Kawuki abadde akwasibwa ebizimbe bitaano ebibaddeko wofiisi za disitulikiti ye Mukono ez’enjawulo nga bimukwasiddwa ssentebe wa disitulikiti  eno Andrew Ssenyonga Luzindana.

Ebizimbe bino kuliko omubadde mutuula akakiiko ka disitulikiti akagaba emirimu, ekizimbe omubadde wofiisi z’ebyensimbi eza disitulikiti, ekizimbe omuterekebwa ebintu ebikozesebwa mu bulimi n’obulunzi, ekizimbe ekimanyiddwa nga Lukiiko Hall omwali muteesezebwa enkiiko z’essaza n’ekizimbe kati omuli wofiisi z’ eggombolola ya Mutuba IV Kawuga.

Minisita Kawuki yeebazizza Ssentebe Ssenyonga n’olukiiko lwakola nalwo olw’okufuba okuzza ebintu bya Buganda ekintu ekyongedde okuteekawo enkolagana ennungi.

Owek. Kawuki yasabye abakulu ku disitulikiti okukwatira wamu n’Obwakabaka okusobola okuddabiriza ebizimbe bino bituukane n’ekitibwa kya Buganda.

Ate yye Ssentebe Luzindana yanyonyodde nga kino bwekyali ekimu ku bisuubizo byeyakola nga asaba abantu okumulonda nategeeza nti abadde alina okukituukiriza era nasiima banne abamuyambyeko okumaliriza ensonga eno.

“Minisita olwaleero lwe lunaku lwentuuka okubeera nga Manifesito yange  eriko ebitundu ebibulayo ngituukiriza okubeera nga ngituusa ku 90 kubanga kino kyekibadde kibulayo. Tetuli bajjeemu okubeera nga ebizimbe byonna twandibikutte netubiwaayo naye yali COVID ono eyatuleetera ekizibu.­” Ssenyonga bweyategeezezza.

Bbo abakiise ku lukiiko lwa Disitulikiti nga bakulembeddwa Sipiika Emmanuel Mbonye banyonyodde nga bwebaludde nga ensonga y’okuzza ebizimbe bino nga ebagulumbya okutuusa lwebasazeewo nga olukiiko awatali kwetemamu babiweeyo.

Ssekiboobo Elijah Bogere Lubanga, yeebazizza abakulembeze ku Disitulikiti ye Mukono olw’okubeera abawulize nebakomyawo ebizimbe by’Obwakabaka.

Omukolo guno gwetabiddwako abakungu n’abeebitibwa okwabadde; Kaggo,Ssenkulu wa Namulondo investments Ltd, abakiise mu lukiiko lwa Buganda okuva e Kyaggwe, ab’amagombolola mu Kyaggwe n’abaweereza ba Minisitule ya Gavumenti ez’ebitundu awamu n’abakulira disitulikiti ye Mukono .

Kinajjukirwa nti Obwakabaka bwa Buganda nga bukulembeddwamu Katikkiro Charles Peter Mayiga bwakolaga endagaano ne gavumenti eyawakati era Pulezidenti Museveni nagiteekako omukono nga ezza ebimu ku bintu bya Buganda

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.