Disan Galiwango agambye ayagala kuyamba tiimu ye eya Vipers okulaba nga yeeriisa enkuuli mu kikopo kya CAF Champions League ekigenda okubaayo sizoni ejja .
Galiwango yeeggase ku Vipers nga July 1 oluvannyuma lw’endagaano ye okugwako ne ttiimu ya Express FC.
Ono yatadda omukono ku ndagano ya myaka ena (4) mu ttiimu ya Vipers FC esangibwa e Kitende era nga yakuggwako mu 2024.
Galiwango yategeezezza nti musanyufu nnyo okukomawo ewaka.
Kinajjukirwa nti omuvubuka ono yamalira ekibiina eky’omukaaga (S.6) ku St. Mary’s Kitende nga eno ttiimu ya Vipers gyesimbye amakanda.
Galiwango yategeezezza nga bulijjo bwali mubwetaavu bw’okuzannyirako tiimu eno.
Galiwango yategeezezza nti ki Vipers yeesinga okubeera n’embeera ennungi wamu n’okulabirira abazannyi oblungi mu ttiimu za Uganda zonna.
Galiwango yategeezezza nti agenda kukola nnyo nga bwekyetaagisa okulaba nga Vipers agisitula okusinga bwagisanze n’okusingira ddala mu sizoni ejja.
Vipers egenda kukiikirira Uganda mu CAF Champions league sizoni ejja oluvannyuma lw’okuwangula ekikopo kya Uganda Premier league omulundi ogw’okuna.
Galiwango amaze sizoni bbiri mu 2019/20 mu tiimu ya Express era ng’asamba mu nnamba 3, 11 ne 7.