Musasi waffe
Bbanka ya DFCU, esse omukago n’obwakabaka bwa Buganda ku kulwanyisa siriimu. Nga asisinkanye Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ku Bulange, Mathias Katamba, agambye nti bbanka egenda kussa obukadde 500 mu kaweefube w’okulwanyisa siriimu mu Uganda nga bayitira mukuwagira emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka. “DFCU ekolera kuteekawo nkulaakulana mu ggwanga n’okukyusa obulamu bw’abantu. Omukago guno gulina okukolebwa kubanga Obwakabaka Bwa Buganda ne DFCU birina ebiruubirirwa byebimu,” Katamba bwagambye. Yayongeddeko nti bbo nga bbanka baagala okwegatta ku kaweefube w’okulwanyisa siriimu kubanga yeyongedde naddala mu bavubuka. “Twagala okukolaganira awamu okusobola okulwanyisa siriimu muggwanga. Tukimanyi nti abasajja tebaagala kwekebeza era tulina okubakubiriza okwekebeza kubanga kino kiggya kukendeeza siriimu mu bakyala,” Katamba, ng’ono ye ssnetebe wa boodi ya CBS bwategeezezza. Yayongeddeko nti nga bbanka nabo bakubiriza abakozi baabwe okwekebeza era babawa n’obujjanjabi obw’obwerere.
“Abantu bonna balina okumanya nti okuba n’obulwadde simusango wabula balina okuwagirwa okulaba nga abulamu bwabwe butambula bulungi,” Ku lulwe Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yebazizza nnyo DFCU okwegatta ku kaweefube w’okulwanyisa siriimu. “Abantu abatali balamu tebasobola kweyagalira munsi yaabwe; mukenenya fenna wamu tulina okumulwanyisa,” Mayiga bwagambye. Agasseko nti nga Obwakabaka wamu ne bbanka bagenda kufunamu mu mukago
“Omukago gukufuula wamanyi okusinga bw’obadde; oyigira kubannamukago by’otamanyi oba byoba tosobola. Omukago fenna gutuleetera obuwanguzi, essanyu n’eddembe,” Mayiga bwagambye. Ye omukungu Ronald Kawaddwa akulira Majestic Brands ategeezeza nti beeteefuteefu okukolagana ne DFCU. “Tukimanyi nti tetugenda kulemaganwa, emikago gino bwetuba tugiyingiddemu tufuba okutuukiriza ng’Obwakabaka era tweyama nti tujja bakwata bulungi. Twagala okukwaniriza era tukukakasa nti ffe lutindo eri akatale,” Kawaddwa bwategeezezza.