Bya Ssemakula John
Kayunga
Abantu abawerako bafunye ebisago ebyamaanyi oluvannyuma lwa poliisi okukuba amasasi ne ttiyaggaasi ng’egezaako okugumbulula abawagizi ba Munnakibiina kya NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu, ababadde bazze okumuwubirako.
Kyagulanyi ategeezezza nti abantu abakubiddwa tebalina kikyamu kye bakoze naye yeewuunya lwaki poliisi egenda mu maaso n’okukozesa obukambwe obususse ku bantu abatalina bulabe.
“Mukwano gwange Dan Magic bamukubye mu ffeesi! Omupoliisi ASP Kato gwe bampa naye akubiddwa bubi nnyo, bangi ku bannaffe bafunye ebisago. Musabire eggwanga lyaffe naye kino tujja kuyitamu.” Kyagulanyi bw’ategeezezza.
Bino we bijjidde nga ab’obuyinza mu Mukono bali mu kunoonyereza ku kabenje akaabaddemu emmotoka ya poliisi n’abawagizi ba Kyagulanyi akaafiiriddemu abantu ababiri ng’aba Kyagulanyi balumiriza nti kaabadde kagenderere.
Omu ku beerabiddeko yategeezezza nti ekimotoka kya poliisi kyayingiridde abawagizi ba Kyagulanyi abaabadde ku Ppikipiki e Mayangayanga ku lw’e Nagoje bwe yabadde agenda e Buikwe okunoonya akalulu.
Akabenje kano kaafiiriddemu abantu 2 ate abalala 2 ne batwalibwa mu ddwaliro gye bapooceza n’ebisago ebyamaanyi.
Eyeesimbyewo ku kkaadi ya NUP ku bubaka bwa Nakifuma, Fred Ssimbwa, yagambye nti omu ku bagenzi ye Jonathan Ssempala nga mutuuze w’e Nakifuma.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano yategeezezza bannamawulire eggulo ku Mmande nti, abawagizi ba Kyagulanyi abaabadde batambulira ku boodabooda, Ppikipiki yabakubye ne baggwa wansi mu kimotoka kya poliisi.
We tukoledde eggulire lino nga poliisi tennavaayo na kiwandiiko ku ebyo ebituuse ku Dan Magic ne musajja waayo, ASP Kato ate nga n’aboogezi ba poliisi essimu zaabwe babadde tebazikwata.