Bya Musasi Waffe
Kitende
Omuzibizi wa ttiimu ya SC Villa, Halid Lwaliwa, ateebye ggoolo esobodde okuwanguza Uganda Cranes omupiira gw’esambye ne South Sudan mu kibina B eky’empaka z’abavuganya okusamba mu mpaka z’akamalirizo eza AFCON.

Lwaliwa nga yaleeteddwa ku kisaawe okusikira Ronald Mukiibi eyafunye obuvune, akozesezza eddakiika entono z’abadde amaze ku kisaawe, okutomera omutwe oluvannyuma lwa Farouk Miya okusimula ekisobya.
Obubonero buno obusatu Cranes bw’efunye, bugitadde ku mugatte gwa bubonero 7 okuva mu mipiira esatu era ne beenywereza ku ntikko y’ekibinja. Ate yo South Sudan y’ekoobedde wansi mu kibinja ng’ewanguddwa emipiira gyonna esatu gy’esambye.
Wabula Uganda Cranes erumye n’ogwengulu okuwangula South Sudan era ng’ekitundu ekisoose kibabeeredde kizibu okuwaguza mu kisenge kya South Sudan.
Abasambi ba Uganda Cranes mubaddemu;
Denis Onyango (GK), Elvis Bwomono, Joseph Ochaya, Timothy Awanyi, Ronald Mukiibi, Mike Azira, Khalid Aucho, Faruku Miya, Emmanuel Okwi, Kizito Luwaga ne Derrick Nsibambi.
Ku ludda lwa South Sudan kubaddeko;
Majak Mawith (GK), Peter Manyang, Abdelkarim Mutwkl, David Omot, Rahan Malong, Stephen Lony, Jackson Morgan, Manyumow Achol, Makueth Wol, Tito Okello neIvan Wani.









