Musasi waffe
Poliisi ya Uganda erabudde abasuubuzi abakolera mu Kikuubo n’ebitundu bya Kampala ebirimu omugotteko nti bubakeeredde singa tebalekeraawo kujeemera biragiro bya gavumenti ku kwetangira ekirwadde kya Coronavirus.
Bwabadde ayogerako ne Bannamawulire ku ssengejjero ly’amawulire ga gavumenti mu Kampala, Fred Enanga, ayogerera poliisi agambye nti omujjuzo oguyitiridde wamu n’okukolera ku nguudo byonna bissa obulamu bw’abantu mukatyabaga k’okukwatibwa ekirwadde kya coronavirus.
“Tuweerezza abantu baffe mu Kikuubo, Namirembe Road, Kafumbe Mukasa n’ebitundu ebirala boogera n’abakulembeze ba basuuubuzi okulaba butya bwetukwatiraawamu okusalira ekizibu kino amagezi,” Enanga bwagambye.
Ayongeddeko nti nga abebyokwerinda, tebagenda kutunula butunuzi balabe ng’obulwadde bukwata abantu nga tabalina kyebakozeewo.
Ennaku zino obulwadde bweyongedde okukwata abantu baabulijjo okwawukanako nga bwegwali nga bwakazuulwa mu Uganda mu mwezi gw’okusatu.
Obudde obwo, bwali bukwata bava bweru wa ggwanga nabazuvi babimotoka ebyetissi byebyamaguzi ebisala ensalo.