Poliisi ekutte ababaka ba palamenti Gilbert Olanya ekiikirira essaza ly’e Kilak ne munne owa Aruu eyamaserengeta Samuel Odonga Otto lwa kwenyigira mu kwekalakaasa okumenya amateeka.
Ababiri bano baggyiddwa mu katale k’e Cereleno mu kibuga ky’e Gulu gyebabadde n’abalala Kelly Komakech, ssentebe w’eggombolola y’e Pece wamu ne Stella Kijange, omulwanirizi w’eddembe ly’obuntu.
Bnao babadde bawakanya ekya gavumenti okugaana okussa ekifo kya kalantiini ku ensalo ya Uganda ne South Sudan ey’Elegu.
Ku lw’omugaaga abantu 84 baasangibwamu ekirwadde kya COVID-19 kyokka nga kubbo 50 baayingira Uganda okuyitira Elegu.
Bano era bawakanya eky’eddwaliro lye Gulu okuba nga lyerigenda okujjanjjaba abalwadde ba Covid-19 kyebagamba nti teririna busobozi buno.
Otto nga tannakwatibwa yategeezezza nti eddwaliro ly’e Gulu abalwadde balisukiriddeko ng’era abamu balina okugyibwayo batwalibwe ewalala.
Woosomera bino ng’eddwaliro lye Gulu lirina abalwadde ba coronavirus 65 newankubadde ng’obusobozi bwalyo bwa balwadde 11.
Olanya yagambye gavumenti erina okukendeeza ku muwendo guno, abalwadde abamu ebatwale e Mulago oba Entebbe.
Kyokka okubeera kwabwe mu katale, kwaleetedde abasuubuzi okubakungaanirako ekyaviiriddeko akulira poliisi e Gulu Emmanuel Masundo okulagira abasirikalebe okubakubamu omukka ogubalagala okusobola okubaguumbulula.
Jimmy Patrick Okema, ayogerera poliisi mu kitundu ky’e Aswa yagambye abana bano era baakunze abantu okukuma omuliro mu luguudo oluva e Gulu okugenda e Nimule.
Wiiki ewedde ababaka ba palamenti abakiikirira ebitundu by’e Acholi baasabye gavumenti okussa ekifo omukuumirwa abalwadde ba coronavirus ku nsalo Elegu okusobola okutangira obulwadde buno okusaasaanira mu bantu.
URN