Bya Ssemakula John
Kampala
Ekitongole ky’ekittavu ky’abakozi ekya National Social Security Fund (NSSF), kitegeezezza nti enyingiza yaakyo etawaanyiziddwa nnyo ekirwadde kya COVID-19 era ekibawalirizza okusala ku magoba ge balina okuwa abakozi abatereka ku mu kittavvu kino.
Okusinziira ku bakulu mu NSSF, bakasitoma baakuweebwa amagoba agali wansi w’ebitundu 10 ku 100 omwaka guno.
Ssenkulu wa NSSF, Richard Byarugaba yagambye nti ebitundu byennyini ebinaaweebwa abantu bigenda kulangirirwa Minisita w’ebyensimbi, Matia Kasaija mu lukiiko lwa bonna olwa buli mwaka olugenda okutuula ku Mmande ya wiiki ejja.
Bino Byarugaba abibuulidde bannamawulire leero ku Lwokuna ku kitebe ky’ekitongole kino wano mu Kampala n’agattako nti baali baakowa okuwa abatereka nabo amagoba agali wansi w’ebitundu 10 ku buli 100 emyaka kkumi emabega.
“Okusannyalala kw’ebyenfuna mu Uganda awamu n’awalala bikosezza nnyo enyingiza yaffe era omwaka guno tetujja kusobola kusasula magoba gasukka bitundu 9 ku buli 100 nga bwekibadde emabega.” Byarugaba bwe yannyonnyodde.
Byarugaba yalambuludde nti kino kyali kyasemba okubaawo emyaka 10 emabega mu mwaka gwa 2010/2011 naye n’ategeeza nti ssente ze bagenda okuwaayo nnyingiko ku z’amawanga amalala mu kitundu kino.
Ono yagambye nti era omulundi ogusoose mu myaka 10 bakuze ebitundu 5 n’obutundutundu 3 ku buli 100.
Byarugaba agamba nti kino kyava ku myezi egyaweebwa kkampuni n’ebitongole obutasasula olw’ensonga nti baali tebakola olwa COVID-19 era nga bamaliriza obuwumbi 22 obulina okukung’anyizibwa buli mwezi tebabufunye ekitegeeza nti obuwumbi obuwera 70 tebwakung’anyizibwa.
Byarugabaa yagambye nti wadde balina okutya okusooka naye abantu tebasabayo nnyo ssente nga bwe kyali kisuubirwa wadde nga balina obwetaavu.