
Musasi waffe
Ng’ekirwadde kya senyiga amanyiddwa nga COVID-19 kikyeyongera okweriisa enkuuli, Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni wakuddamu okw’ogerako eri eggwanga olwaleero.
Okusinziira ku Don Wanyama, omwogezi wa pulezidneti, Museveni wakw’ogerako eri eggwanga ku ssaawa bbiri ez’ekiro.
Guno gugenda kuba mulundi gwakutaano nga Museveni ayogerako eri eggwanga mu bbanga lya ssabbiiti bbiri.
Olwaleero minisitule evunanyizibwa ku by’obulamu erangiridde nti abantu abalala bataano bebaazuuliddwa nti bebalina ekirwadde kino ekyakatta abantu abagenda mu mitwalo ebiri munsi yonna.