Musasi waffe
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni aweze entambula y’olukale yonna mu ggwanga okusobola okulemesa okusaasaana kw’ekirwadde kya COVID-19.
Museveni abadde ayogerako eri eggwanga agambye nti entambula y’okukale omuli takisi, baasi, boda boda eggali y’omukka byabulabe nnyo eri abantu kubanga bigatta abantu abatemanyi.
Museveni agambye anti emmotoka zokka ezigenda okukirizibwa zeezo ezitambuza emmere, ebyamaguzi, emmotoka ezitwala abalwadde, emmotoka z’ebitongole by’ebyokwerinda wamu nezimu ku mmotoka za gavumenti.
“Emmotoka zokka ezikkirizibwa zeezo ez’obwannayini naye nga nazo teziteekeddwa kusussa bantu basatu okuli ne dereeva,” Museveni bweyagambye.
Mu birala era Museveni agambye okuva nereero, abasuubuzi mu butale abatatunda byakulya nabo bawereddwa. Museveni agambye newankubadde ng’obutale bubadde bugezezzaako okukuuma obuyonjo n’gokunaaba mungalo bulina abantu bangi.
“Musigale ewaka mmwe abatatunda mmere kubanga twagala kukeendeeza mujjuzo mu butale,” Museveni bweyagambye.
Omukulembeze w’eggwanga era yategeezezza nti woofiisi za gavumenti zonna eziteetaagisa nnyo nazo zaakuggalwa okujjako abantu abo bokka abeetaagisa ennyo. Mu baayogeddeko kuliko ekitongole ekiwooza ky’emisolo ekya Uganda Revenue Authority.
“Ebyamaguzi bikyajja mu Uganda twagala abantu abanaakola ku bantu bano wamu n’okukungaanya emisolo,” Museveni bweyagambye.
Olwaleero abantu abalala bataano balangiriddwa nti bakwatiddwa ekiradde kya Coronavirus.
Abataano bawezezza omuwendo gw’abantu 14 kati abalina COVID-19.