![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/03/Museveni-covid.jpg)
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni alagidde ensalo za Uganda zonna ziggalwe mu kaweefube w’okulwanyisa ekirwadde kya Coronavirus ekimanyiddwa nga Covid-19.
Museveni era agambye nti ennyonyi zonna ezireeta abasaabaze mu ggwanga zonna ziwereddwa.
Abantu abayingira mu ggwanga nga bakozesa ennonyi, enguudo oba amazzi oba Bannayuganda oba bagwira bonna nabo bawereddwa obaokuyita.
Ennonyi zokka ezikiriziddwa zeezo ez’ekitongole ky’Amawanga amagatte n’ezo enneetissi z’emigugu.
“Teri muntu yenna oba munnayuganda waakukukirizibwa okuyingira mu ggwanga okujjako ebimotoka ebyetissi by’ebintu ate nga nabyo tebisussa bantu basatu. Teri era muntu yenna waakukkirizibwa kufuluma Uganda,” Museveni bweyagambye.
Minisita w’eby’obulamu Jane Ruth Acheng yategeezezza nti bulijjo babadde bakyakkiriza abantu okuyingira mu ggwanga kyokka bwebabagamba okubateeka mu karantiini tebakkiriza.
Acheng yagambye abantu abasukka mu 1000 bebakuumibwa mu bifo eby’enjawulo nga bwebabeetegereza oba tebalina kirwadde kino nnamuzisa.
Ku lw’okusatu, Museveni yayisa ebiragiro ebikambwe omuli okuggala amasomero, okuwera okusinza mu mizikiti n’amakanisa, okuwera enkungaana ez’enjawulo nebirala bingi.
Abantu abasukka 12,000 bebaakafa ate abalala 250,000 nebakwatibwa ekirwadde kino mu nsi yonna.