Musasi waffe
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/06/Peace-Mutuzo-768x1024.jpeg)
Gavumenti egambye egenda kutandika ku nteekateeka y’okuwa abakadde bonna okuva ku myaka 80 emitwalo kkumi n’etaano [150,000] zibayamabeko okuvvuunuka obuzibu obuleeteddwa ekirwadde kya coronavirus.
Bwabadde ayogerako ne Bannamawulire mu Kampala, Peace Mutuzo minisita omubeezi avunaanyizibwa ku kikula ky’abantu ategeezezza nti bagenda kugabira ssente abantu 358,420 okwetooloola disitulikiti 135 mu Uganda.
Ono yategeezezza nti abakadde mu nsi yonna bebasinze okukosebwa coronavirus nga ku buli bantu 100 abafudde akawuka kano, 70 balina emyaka 60 n’okweyongera waggulu.
Newankubadde ng’omukadde mu Uganda y’oyo alina emyaka 60 n’okwambuka, Mutuzo yagambye ku luno bagenda kuwa abakadde okutandikira ku myaka 80 kubanga eggwanga terinnafuna busobozi bumala.
Enteekateeka y’okuwa abakadde ssente yatandika emyaka nga 10 emabega nga buli mwezi omukadde afuna 25,000 mu disitulikiti 47 enkola eno gyebadde kola.