Abakulira eddwaliro ly’e mengo bamaze okukatema abakozi baabwe nti okutandika n’omwezi guno, bagenda kusala ku misaala gyabwe okutuuka ku bitundu 20 ku buli kikumi olw’ekirwadde kya coronavirus ekireetedde okuba nga tebakyasobola kufuna sente zimala.
Mu bbaluwa eyawandiikiddwa Dr Rose Mutumba, akulira eddwaliro lino, olukiiko olufuzi lwasazeewo okusala ku misala gy’abakozi egya May, June ne July.
Kino, Mutumba yagambye kubadde kusalawo okw’obujiji era bakimanyi nti kugenda kukosa nnyo abakozi baabwe.
Abakozi ababadde bafuna akakadde kamu n’okwambuka emisaala gyabwe gyakusalibwako okutuuka ku bitundu 20, ate bbo, abafuna 550,000-999,000 egyabwe gyakusalwako ebitundu 15 ng’ate abafuna 450,000-550,000 bbo baakusalwako ebitundu 10 ku buli kikumi.
Mungeri yeemu, abafuna 421,000-450,000 bakusalwako ebitundu 9, ate abafuna 400,000-420,000 ezaabwe ebitundu 5, byakukeculwako.
Wabula bbo abafuna 400,000, ku buli kikumi ezaabwe sizaakukendeezebwa.
Eddwaliro ly’e Mengo gegamu ku gaasigala gakola newankubadde nga pulezidenti Museveni yalangirira omuggalo.
Wabula omuggalo gutegeeza nti abantu abataali bubi nnyo tebaasabola kugenda mu ddwaliro.
Amakampuni ag’enjawulo gasaze ku bakozi oba okukendeeza emisaala gyabwe olw’omuggalo gavumenti gweyalangirira okusobola okutangira okusaasaana kw’ekirwadde kya coronavirus mu Uganda.
URN