Omumyuka asooka owa Katikkiro wa Buganda, Oweek. Prof. Twaha Kigongo Kaawaase agambye newankubadde ekirwadde kya coronavirus kifukamizza ensi yonna nga ne Uganda, mw’ogitwaliddde, naye abantu bateekwa okukifunamu eby’okuyiga.
Bwabade ayogerako eri emikutu gy’Obwakabaka egy’ebyempuliziganya omuli BBS Terefayina, CBS leediyo ne Gambuuze-Online okusinziira mu makaagee Bukoto, Oweek. Kaawaase ategeezezza nti ekirwadde kya Coronavirus kiteekeddwa okuyigiriza abantu nti omulimu
ogumu mutego, bwegumasuka omuntu aba ‘awedde.’
“Abakozi abafuna omusaala mukimanye nti mwetaaga okufunayo ebirala byemukola. Oteekwa okubaako n’ekirala ekitambula oba osimbye miti, oba olunze embuzi,” Kaawaase bweyagambye.
Ono nga mukugu mu byenfuna n’ebyenjigiriza yategeezezza nti
n’abakozesa beteekeddwa okuyiga okukwata ensimbi z’abwe n’obwegendereza.
“Twegendereze okukola ssente netuzirya ekivubi. Oteekwa okumanya nti waliyo olunaku olwenkya. Ggw’obadde okimanyi nti akantu ketutalaba kasobola okutusibira ewaka ebbanga lino lyonna,” Kaawaase bweyagambye.
Yagasseeko nti ekirwadde kya coronavirus nakyo kiteekeddwa okuyigiriza abantu nti basobola okukola ebintu ng’embaga, okuziika n’emikolo emirala nga bagoberera ennono ya Buganda.
Yagambye obulwadde buno bwalaze nti omuntu asobola okukola omukolo ogw’abantu abatono ddala ate neguvaayo bulungi.
Gavumenti yawera emikolo gyonna egikunganya abantu abangi n’agamba nti embaga ekkirizibwako banti 10 lyokka.
Ate okuziika yakukkirizaako bantu abatasukka 30 nga banganda bokka.
Oweek. Kaawaase era yategeezezza nti coronavirus era yalaze nti enkola ya munno mukabi ekyaliwo mu ggwanga.
Wano yanokoddeyo Kabaka eyawaayo obukadde 100 okuyambako abantube abakoseddwa ebiragiro bya gavumenti okuziyiza ekirwadde kino okusaasana.
Mubirala, Kaawaase yagambye nti ekirwadde kino kiteekeddwa okujjukiza eggwanga okussa essente mu malwaliro, eby’obulimi, okunonyereza wamu n’ebyenjigiriza.
“Corona yazze era ajjakuggwawo tugende mu maaso. Twetegereze nnyo era tubeere bakambwe okukwata ssente ezifuluma. Eziyingira tuzaanirize naye ezifuluma tuzitangire,” Kawaase bweyagambye.
Yayongeddeko nti ng’eggwanga likyali ku muggalo gwa coronavirus, abantu bateekeddwa okusigala nga bakola ebintu nga dduyiro n’okuyambako mu nsoma y’abaana.
“Kabaka yalengera wala nnyo n’atandika Terefayina abaana webasomera. Omwana wabeera ewaka abeere ne timetable okukola emirimu gy’awaka si kulaba tiivi kyokka.”