Bya Ssemakula John
Kampala
Minisitule y’ebyobulamu erabudde abantu mu ggwanga abatandise okukozesa enjaga n’ebiralagalalagala ebirala okubyeyoteza, okubinywa, okubinuusa nga bagezaako okwekuuma ekirwadde kya Ssennyiga Corona n’okufuula emibiri gyabwe egy’amaanyi.
Obutambi obwenjawulo busaasaanidde emitimbagano ng’abantu abamu bawa obujulizi ng’ebikoola by’enjaga bwe bisobola okuwonya ekirwadde kya COVID-19.
Abakugu mu by’obulamu bagamba nti okukozesa enjaga n’eddagala eddala ery’ekinnansi byongedde ku bantu abaddusibwa mu malwaliro nga bafunye obuzibu mu kussa.
Omuteesiteesi omukulu owa Minisitule y’ebyobulamu, Dr. Diana Atwine, agamba nti abantu basaanye okwewala okukozesa enjaga kuba tewali kunoonyereza kwonna kwakoleddwa okukakasa nti enjaga evumula COVID-19.
Dr. Atwiine alaze okutya nti singa abantu banaalemera ku kukozesa enjaga bayinza obutagivaako ate nga kisobola n’okubaviraamu endwadde endala.
Ono abantu abawadde amagezi okusigala ku magezi agabaweebwa abasawo abakugu era bakuume n’ebiragiro bya Ssennyiga Corona ebyabaweebwa Minisitule y’ebyobulamu.
Bino we bijjidde nga Uganda yaakafuna abalwadde ba COVID-19 63,099 ate ng’abantu 434 abafudde, ebibasse byekuusa ku Ssennyiga Corona.