Okunoonyereza okuwandiikiddwa mu katabo ‘the Physics of Fluids’ kulaze nti omuntu asobola okufuna ekirwadde kya Coronavirus singa akozesa kaabuyonjo ekozeseddwa omuntu alina ekirwadde kino.
Okusinziira kukunoonyereza kuno, singa kaabuyonjo y’amazzi esikibwa okutwala obukyafu, amazzi g’emansula gayinza okubaamu obuwuka obusaasanya coronavirus era kyangu okumusiiga omuntu addako okukozesa kaabuyonjo eno.
Kino kiri bwekiti kubanga akawuka kasobola okulemera ku bisenge bya kaabuyonjo nga tekannakwata muntu mulala.
Okusinziira ku kunonyereza okwakolebwa aba ssettendekero wa Yangzhou mu China, kulaga nti era kaabuyonjo esobola okusika akawuka kano nekakwata omuntu omulala agigendako.
Omu kubanoonyereza Ji-Xiang Wang, yakuutidde abantu okubikka nga ku kaabuyonjo nga tebanaba kuyiwamu mazzi okutangira akawuka bwekabaamu okusaasaana.
URN