Bya Ssemakula John
Kampala
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni alonze Christopher Aine, okubeera omumyuka w’omubaka wa Pulezidenti e Mbarara.
Aine nga ye yali akulira ebyokwerinda bye yali Ssaabaminisita era eyavuganya ku kalulu k’Obwapulezidenti aka 2021, John Patrick Amama Mbabazi, kati agenda kumyuka Lt. Col James Mwsigye.
Lt. Col. Mwesigye okulondebwa kwa Aine yakukakasizza ng’ayita ku lukomo lw’essimu era n’awayaamu n’omukutu gwa Chimpreports.
Ekifo kino kibadde kimaze akaseera nga temuli muntu okuva omwaka oguwedde, oluvannyuma lwa Emmy Kateera eyakirimu okusindikibwa e Rwampara ng’omubaka wa Pulezidenti ow’ekiseera mu kitundu ekyo.
Aine ensi yamutegeerera ku kalulu ka 2016 ak’obwapulezidenti, bwe yalwanagana n’abeebykwerinda nga bagezaako okulemesa mukama we, Amama Mbabazi okukuba enkung’aana.
Aine teyaddamu kulabikako oluvannyuma lw’okukwatibwa ab’ebyokwerinda era ekyaddako by’ebigambo okuyiting’ana ng’ono bwe yali attiddwa era omutimbagano ne gusaasaanirako ebifaananyi by’omulambo ogwali gugambibwa nti gugwe.
Emyezi ebiri ng’akalulu kawedde, ono yalabika ng’ali ne Gen. Salim Saleh era ne yeewaayo mu mikono gy’abeebyokwerinda era n’ategeeza nti abadde yeekwese.
Okulondebwa kwa Aine kuggumiza okutabagana wakati wa Amama Mbabazi ne Pulezidenti Museveni era bano baasalawo okuteeka embiranye yaabwe ku bbali baddemu okukolagana era bino bye bimu ku bibala.