Bya Ssemakula John
Kampala
Munnayuganda eyawangulidde Uganda emidaali okuli ogwa zzaabu awamu ne ffeeza mu mpaka za Olympics eza 2020, Joshua Cheptegi, atongozza kaweefube w’okunoonya ssente eziwera akawumbi kamu n’obukadde 700 ( 1.7b) asobole okumaliriza ekifo ewatendekerwa abaddusi e Kapchorwa.
Okuzimba ekifo kino kwatandika mu 2018, oluvannyuma lw’okuwangula ezimu ku mpaka z’emisinde gy’amawanga agaliko mu luse olumu ne Bungereza.
Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire ku Hotel Serena mu Kampala ku Lwona, Cheptegei agambye nti ekifo kino kigenda kukozesebwa ng’ekaddiyizo ly’abaddusi awamu n’ekifo abaddusi we batendekerwa.
“Ekifo kino kigenda kuleeta abalambuzi abanyumirwa eby’emizannyo, tutongozza kaweefube agenda okumala ennaku 100 nga tusonda ssente akawumbi 1.7 okumaliriza omulimu guno.” Cheptegei bw’agambye.
Okusinziira ku Cheptegei, abaddusi beetaaga ekifo ekituufu we balina okutendekerwa okusobola okuvuganya obulungi era n’asaba bannayuganda okuwagira ekirooto.
“Bannayuganda bannange, Olympics atulaze nti omuddusi yenna asobola okubeera owaamaanyi naye okutuukiriza kino kyetaaga embeera ennungi ne w’atendekerwa awatuukana n’omutindo.” Cheptegei bw’annyonnyodde.
Enteekateeka eno etuumiddwa “Run with Cheptegei” era abazirakisa bajja kuwaayo ssente nga bayita ku nkola ya Momo Pay awamu ne akawunta ng’okugyetabako omuntu anyiga *165 * 3 olwo n’anyigamu ennamba 319325.
Ono era abawadde ennamba ya kawunti 9030016912866 okusonderako ssente nga eri mu mannya ga Cheptegei Joshya Kiprui.
Cheptegei asiimye bannayuganda ne Pulezidenti Museveni olw’obuwagizi bwe baabawadde mu mpaka za Tokyo Olympics 2020.