Bya Musasi Waffe
Omuddusi w’emisinde Joshua Kiprui Cheptegei, ekiro ky’eggulo yamenyewo likodi y’ensi yonna mu misinde gya mmita 5000 bwatyo nawangulira Uganda omuddaali gwa Zzaabu mu mpaka za 2020 Diamond League ezibadde e Monaco mu Bufalansa.
Emisinde gino Cheptegei yagiddukidde eddakiika 12:35.36 naggyawo likodi ya munnansi wa Ethiopia Kenenisa Bekele ey’eddakiika 12:37.35 gyeyateekawo mu 2004 bweyali e Hengelo ekya Netherlands mu 2004.
Cheptegei okusooka yasanze okuvuganya okwamanyi okuva eri munnakenya Nicholas Kimeli Kipkorir, ono mukusooka yamubadde ku lyanda, okukkakana nga amalidde mu kifo kya kubiri ate munnakenya omulala Jacob Krop namalira mu nnamba ssatu.
Munnayuganda omulala eyabadde mu misinde gino ye Stephen Kissa, ono yabadde omu ku bataddewo okuvuganya okusooka naye gyebyagweredde nga awanduse era teyamazeeko.
Pulezident Yoweri Kaguta Museveni yavuddeyo nayozaayoza Cheptegei nga ayita ku kibanja kye ekya Twitter, nategeeza nga ono bwayongedde okutumbula Uganda n’okuleetera bannansi esanyu ely’omujjirano.
Abaddusi abalala okuli Halimah Nakaayi ne Winnie Nanyondo ebintu tebyabatambulidde bulungi era okukkakana nga bakutte ekifo eky’okutaano n’ ekyomunaana.
Kinajjukirwa nti, ku Lwomukaaga lwa wiiki Cheptegei ne banne basimbulwa minisita w’ebyenjigiriza n’emizannyo okugenda e Bufalansa bayambibwako pulezidenti Museveni.