Bya Ssemakula John
Kampala
Munnayuganda omuddusi w’emisinde, Peruth Chemutai 22, awangulidde Uganda omudaali gwa Zaabu ogusookedde ddala mu mpaka za Olympics 2020 eziyindira mu kibuga Tokyo ekya Japan.
Ku Lwokusatu Chemutai yataddewo okuvuganya okwamaanyi ku mulundi ogwabadde gusembayo n’asobola okuwangula omuddusi w’Amerika, Frerichs Courtney, eyabadde akulembeddemu emisinde egyasoose.
Chemutai yaddukidde eddakiika 9:01:45 n’ateekayo likodi y’eggwanga empya.
Ono era ye munnayuganda omukazi asoose okuwangula omudaali mu mpaka za Olympics.
Uganda yaakawangula emidaali esatu mu mpaka zino nga emirala gyawanguddwa Joshua Chetegei (Silver) ne Jocob Kiplimo (Bronze) mu mpaka z’abasajja eza mmita 10000.