Bya Musasi Waffe
Kampala
Munnakibiina kya Democratic Party (DP) era Ssaabakunzi waakyo, Joseph Mayanja amanyiddwa nga Joseph Mayanja yeegaanye ekibiina kino mu maaso ga muganda wa Pulezidenti Museveni, Micheal Nuwagira amanyiddwa nga Toyota era n’ategeeza nga bw’atavangako mu kibiina kya National Resistance Movement (NRM) wadde waliwo ebiriwo.
Bino byabadde ku mukolo ogwabadde gutegekeddwa Toyota mu Kampala ku wiikendi eno ewedde era Chameleone yabadde awerekeddwako muganda we, Pius Mayanja amanyiddwa nga Pallaso.
“Omujulizi wano asinga ayinza kuba Mw. Toyota, mukwano gwange nkyali mukwano gwammwe sivanga mu NRM. Bwe muba muwakana muggyeeyo amasimu gammwe munkwate obutambi kuba nkyali mu NRM.” Mayanja bwe yagambye.
Mayanja yategeezezza nti yalina ebyali bimutwalaganya era n’akakasa nti alinga omwana eyali yazaawa bbayibuli gw’eyogerako.
Ebigambo bya Chameleone byacamudde omugagga Toyota era n’amukwata ku mukono n’amutwala we yabadde atadde emmotoka kika kya Range Rover empya kampyata eyafulumye omwaka guno era bwe baagituuseeko n’amukwasa ebisumuluzo n’agimutonera.
Wano Chameleone byamuweddeko era okukkakkana ng’afukamidde ku ttaka ne yeebaza Toyota olw’ekirabo kino.
Mayanja amanyiddwa okubeera ng’azze akyukakyuka era bwe yali avuganya ku bwapulezidenti yatambula mu bibiina ebyenjawulo omuli NUP ne DP era bino we bibeereddewo nga ye Ssaabakunzi w’ekibiina kya DP.