Bya Stephen Kulubasi
Mpigi
Ekitongole kya Kabaka ekivunaanyizibwa ku nkulaakulana n’okutumbula embeera z’abantu ba Buganda ekya CBS-PEWOSA, kigenda kuzimbira essomero lya St. Mary’s Bunjakko, ebibiina okusobola okutumbula ebyenjigiriza.
Kino kyalangiridde akulira PEWOSA, Omuk. Florence Luwedde, bwe yabadde atongoza omulimu guno e Bunjakko mu Buwama mu disitulikiti y’e Mpigi.
Okusinziira ku Luwedde, ebizimbe bino bisuubirwa okuyambako okwanguya entambuza y’emirimu ku ssomero lino kisobozese okulinnyisa omutindo gw’ebyenjigiriza mu kitundu kino.
Omuk. Luwedde akalaatidde abazadde okukomya omuze gw’okukozesa abaana emirimu egivaamu ensimbi ng’obuvubi, kuba kino kibalemesa okwenyigira mu byenjigiriza.
Ono era abakulembeze abakuutidde okubuulira abazadde ekituufu kye balina okuwa abaana baabwe kuba tewali kijja kusinga kirabo kya byanjigiriza.
Akulira entambuza y’emirimu mu CBS -PEWOSA, Vincent Sseruwuju ategeezezza nti ekiruubirirwa kyabwe kya kukyusa embeera z’obulamu bw’abantu ba Kabaka.
Ono yeebazizza abatuuze be Bunjakko olw’okwaniriza ekiragiro kya Kabaka ne beeyuna okwegatta ku PEWOSA, ekintu ekikyusizza obulamu bwabwe.
Akulira abaasomerako mu ssomero lino, Ronald Muteesaasira era nga ye ssentebe w’akakiiko akazimbi, yeekkokkodde obwavu obukudde ejjembe mu kitundu ky’e Bunjakko n’agamba nti bwe buviiriddeko abazadde okusuula obuvunaanyizibwa bwabwe eri abaana.