Omulamuzi wa kkooti ejulirwamu era nga yaakulira Akakiiko k’ebyokulonda Simon Byabakama Mugenyi awakanyizza ebigambibwa nti Pulezidenti Museveni yeyagobye abakungu bakakiiko kano.
Ku lwokubiri amawulire gaafuluma nga gategeeza nti abadde omuwandiisi wa akakiiko k’ebyokulonda Sam Rwakojo, abadde akwogerera Jotham Taremwa, abadde akola ku by’okugula ebintu Wanyoto Godfrey saako n’akulira ebyuma bikalimagezi Namugera Pontius baagobeddwa lwamivuyo mu kufuna kampuni enaakuba ebinnaakozesebwa mu kulonda.
Kyokka Byabakama ategeezezza nti eggulo abakungu bano baamuwandiikidde nga bamusaba bawummule emirimu gy’akakiko.
“Mwagala mbagambe byesimanyi? Nze bangambye baagala kuwummula era mu ndowooza yange ndaba nga kino kyabulijjo,” Byabakama weyategeezezza.
Okulekulira kwabano kujjidde mu kaseera nga Uganda yeetegekera akalulu ka bwonna mu mwaka 2021.
Byabakama yategeezezza nti newankubadde ng’okulekulira kwabano kugenda bakoosaamu naye tekugenda kutaataaganya nteekateeka ya kalulu n’omulundi n’ogumu.