Bya Samuel Stuart Jingo
Bbowa – Bulemeezi
Olwaleero Obwakabaka bwa Buganda bwegasse ku nsi yonna okukuzza olunaku lw’Abakadde wansi w’omulamwa “Buvunnanyizibwa Bwaffe Ffena Okussa Ekitiibwa mu Bakadde n’Okusitula Omutindo mu mbeera Zaabwe”Omukolo guno guyindidde ku Mbuga y’Essaza Bulemeezi e Bbowa nga Katikkiro Charles Peter Mayiga akikiriddwa Omumyuka w’Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Oweek Ahmed Lwasa.

Kamalabyonna asabye abantu okubuddabudda abakadde mu mbeera zonna zebayittamu, obutabacunga, okubawuliriza endowooza zabwe okusobola okubeerawo nabwo mu bulungi.
Katikkiro akubirizza abakadde okweyunga ku mitimbagano bagende ne bitambula mu maaso mu ggwanga awamu n’okwetoloola ensi yonna kibayambeko okumanya engeri gyebalina okutambuuzamu obulamu bwabwe.

Wano wasabidde ne gavumenti okufaayo ennyo ku nsonga zabwe bawulire okugalwa.
Omukolo guno gwetabiddwako Minisita wa Bulungibwansi, Obutondebwensi, Amazzi n’Ekikula ky’Abantu Oweek Hajjat Mariam Mayanja Nkalubo, Omwami w’essaza Bulemeezi Kkangawo Oweek. Dr. Ronald Mulondo, ababaka ba Palamenti; Hon. Robert Ssekitoleko, Hon. James Kakooza n’abantu abalala.











